• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Ab’ebyokwerinda bekobaana n’oludda oluvuganya mu kwekalakaasa – Minisita Mbayo

Gambuuze by Gambuuze
November 26, 2020
in Amawulire
0 0
0
Ab’ebyokwerinda bekobaana n’oludda oluvuganya  mu kwekalakaasa – Minisita Mbayo
0
SHARES
17
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Yusufu Muwuluzi

Kampala

Minisita w’ensonga z’Obwapulezidenti, Esther Mbayo, ategeezezza nti batandise okunoonyereza ku bigambibwa nti abamu ku b’ebyokwerinda beenyigira mu kwekalakaasa kuno ne balemwa okukola omulimu gwabwe.

Minisita Mbayo nabamu ku beetabye mu lusirika luno e Masaka ku Brovad

Bino Mbayo yabyogeredde  mu lusirika lw’abatwala eby’okwerinda okuli; ba RDC, DISO ne bassentebe ba NRM mu disitulikiti ez’enjawulo ezikola ettundutundu lya Masaka, olwayindidde ku Hotel Brovad eggulo ku Lwokusatu.

“Waliwo ab’ebyokwerinda abalwanyisa gavumenti era tubamanyi era tukola buli kimu okubakolako. Ggwe bw’oba olwanyisa gavumenti obeera okolerera ani? Ebintu bino bitegeke era abamu wakati mu kwekalakaasa baatuula butuuzi ne bagaana okufaayo okukuuma abantu.” Mbayo bwe yagambye.

Minisita Mbayo yagambye nti kyewuunyisa okulaba ng’amawanga g’ebweru gavumirira enneeyisa ya b’ebyokwerinda kyokka ne batavaayo ku beekalakaasa abaakola effujjo n’okwonoona ebintu.

Ono yagasseeko nti gavumenti yeetegese ekimala okukuuma bannayuganda ne byabwe era n’asaba abeesimbyewo okukuuma obulamu bwa bantu.

Mbayo agamba nti wadde waliwo ensobi ezaakolebwa ku ludda lw’abapoliisi, naye bannayuganda balina okukimanya nti tewali muntu atuukiriddde.

Kino kyaddiridde okwekalakaasa okwali mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo oluvannyuma lw’okukwatibwa kwa Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) e Luuka.

Okwekalakaasa kuno kwafiiramu abantu abasoba mu 50 era ng’ebintu ebiwerako byayonoonebwa.

RDC wa Kyotera, Maj. David Matovu yasinzidde mu lusirika luno n’asaba gavumenti okuvaayo ekome ku bakulembeze b’ennono ne bannaddiini b’agamba nti batandise okukuma mu bantu omuliro.

Matovu yannyonnyodde nti abamu ku bannaddiini n’abakulembeze b’ensikirano, balina obukyayi ku gavumenti.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist