
Bya Miiro Shafik
Obukulembeze bw’abavubuka mu Buganda budduukiridde abayizi b’ekibiina ekyomusanvu mu Butambala ne Gomba n’ebikozesebwa.
Bano abakulembeddwamu Ssentebe waabwe Baker Ssejjengo n’Omuwanika Nambogga Evelyn ne Ssentebe w’Abavubuka mu Butambala Musa Lubega, bagenze mu masomero okuli; Butende UMEA Primary School, Bulo UMEA Primary School, Bugobango C/U Primary School, Nakiju UMEA Primary School n’amalala.
“Okusoma kwe kukyusa omwana w’omulimi w’emmwanyi oba ow’entangawuzi n’afuuka omubaka wa Paalamenti y’Eggwanga” Baker Ssejjengo. Ono akubirizza abaana okutwala okusoma kwabwe nga nsonga nkulu, bateekeyo omwoyo okusobola okutegeera ebibasomesebwa olwo bibagase mu maaso.

Ssentebe Ssejjengo asabye abantu okuddako mu masomero gye baasomera ne mu bitundu gye babeera n’awalala okudduukirira ku baana naddala mu masomero agali mu mbeera etali nnungi. Ono agamba nti abayizi bangi naddala mu byalo basanga okusoomozebwa okufuna ebikozesebwa mu kibiina oluusi ekibaviirako okukola obubi so nga singa bayambibwako, basobola nabo okusoma obulungi.
Abaami ba Kabaka mu ggombolola ez’enjawulo abeetabye mu nteekateeka eno basiimye nnyo obukulembeze bw’abavubuka olw’okudduukirira abayizi abali mu bitundu bino ne bagamba nti Kano kabonero kalungi akalaga okugenda mu maaso mu kitongole ky’abavubuka n’obuggumivu bwa Buganda ne Uganda mu biseera by’omumaaso.

Bbo abakulembeze b’amasomero n’abayizi balaze essanyu lya nsusso eri enteekateeka eno era beeyanzizza nnyo Ssaabasajja Kabaka olw’okubalowoozaako ng’ayita mu kitongole ky’abavubuka ne babadduukirira mu ngeri ey’enjawulo. Ettu eryetikiddwa abavubuka mubaddemu ebitabo, ekkalaamu, bbayiro, ebisabika by’abawala, ‘sets’ n’ebirala.

Enteekateeka eno ezze ekolebwa okwetoloola amasaza ga Buganda gonna ng’abakulembeze b’abavubuka ba Buganda bagamba baluubirira okuyamba ku bato baabwe abali mu masomero naddala mu kibiina eky’omusanvu ate n’okuzuukusa abantu abalina obusobozi okudduukirira abo abeetaavu ate ng’oluusi ebintu bye baagala bisoboka okubatuusibwako.