Bya Shafik Miiro
Katwe, Kyaddondo
Minisita w’Obuwangwa n’Ennono Owek. Dr. Anthony Wamala agamba nti abantu bangi bavvoola Obuwangwa olw’obutafaayo kumanya makulu gaabwo. Agamba nti abantu bangi bwe bawulira ekigambo Obuwangwa, balowooza bya kusamira abalala babiyita bya sitaani ekitali kituufu!
Annyonnyodde nti obuwangwa kitegeeza ennambika oba enneeyisa eyawula abantu ab’Eggwanga erimu ku ddala, era mu binyonyola obuwangwa mulimu olulimi, emmere eriibwa n’etaliibwa, entuuma y’amannya n’ebirala okugeza mu buwangwa bw’Abaganda waliwo emmere eriibwa n’etaliibwa ate era n’amannya agatuumibwa nga byawukanira ddala ku by’abantu abalala.
Wano wasinzidde n’akubiriza abakulembeze mu Bika okufaayo ennyo okulambika abazukkulu okutegeera obuwangwa bwabwe baleme ate ku bufeebya. Avvumiridde ekikolwa eky’okutuuma erinnya erimu mu maka, nga abakikola bakuliririza nti ‘Family name’, ategeezeza nti ssi kibi okusalawo okubeera n’erinnya lye mufaanaganya naye nga buli omu asoose kuweebwa linnya lye eryenkalakkalira. Kale asabye n’abazukkulu mu Bika byonna okukolanga okunonyereza kw’ebyo bye batamanyi nga tebanabivumirira.
Okwogera bino, Owekitiibwa Wamala abadde ku mukolo gw’okulayiza obukulembeze bw’Ekika kye Ngabi Nnyunga mu Ggombolola Makindye Mutuba III mu Kyaddondo. Abakulembeze abalayidde abasibiridde entanda ya nnyingo 4 enkulu; Okunyweza obukulembeze bw’Ekika, okuwandiisa abazukkulu n’okubateerawo enteekateeka ezibakulaakulanyiza awamu, okulongoosa n’okukulaakulanya Embuga y’Ekika, n’okukuuma eby’obugagga by’Ekika nga babiteeka mu lukiiko lw’Abayima abalondeddwa mu Kika.
Mu bakulembeze abalayiziddwa kuliko Katikkiro w’Ekika Dr. Abas Mukyondwa Kabogo n’Abamyuka be 2 wamu n’abolukiiko be bagenda okukola nabo emirimu. Ku lwa banne, Dr. Abaasi Mukyondwa aweze nti tebajja kutiirira Nnamulondo era bajja kukola emirimu nga batambulira mu buufu bwa Ssaabasajja Kabaka n’okulambikibwa kw’omukulu w’Ekika era ategeezeza nti bingi eby’enkulaakulana bye batunuulidde okuteekawo mu Kika.
Omukulu w’Ekika, Omutaka Kannyana Daniel Kiwana yebazizza abakulembeze abaawummudde b’agambye nti bakoze omulimu munene mu kutambuza emirimu gy’Ekika era asabye abazze mu bukulembeze obuggya nabo okwongera kw’ebyo ebituukiddwako, Ekika kye Ngabi Nnyunga kyongere okukulaakulana.
Omukolo guno gwetabiddwako Omutaka Nnamwama Augustine Kizito Mutumba, Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka, Omutaka Kannyana Daniel Kiwana omukulu w’Ekika kye Ngabi Nnyunga, Abakulu ab’amasiga mu Kika kino n’abazukkulu abaddewo okujulira okulayira kw’abakulembeze baabwe.