Bya Ssemakula John
Kampala
Poliisi esambazze ebyogerwa nti baakedde kulumba maka ga Robert Kyagulanyi aka Bobi Wine nti, bino si bituufu.
Kigambibwa nti Kyagulanyi yawaliriziddwa okusazaamu okwogera ne bannamawulire ba leediyo ya Hot 96 oluvannyuma lwa poliisi n’amagye okulumba amaka ge enkya ya leero.
Mu kwogera kuno, Kyagulanyi abadde ayogera ku mbeera eriwo wakati ng’eggwanga lyetegekera okulonda ku Lwokuna era ng’ono yavudde mu buntu abajaasi bwe baatandise okukwata abakuumi be.
“Munansonyiwa naye n’essaawa eno, abajaasi batulumbye. Nina okugenda kuba abajaasi ndaba bakuba abakuumi bange n’okubakwata.” Kyagulanyi bw’agambye.
Wabula poliisi etegeezezza mu ttuntu lya leero nti bino si bituufu era ne basaba abantu obutabigenderako.
“Tulabye amawulire agatali matuufu agasaasaanye ku mutimbagano nti amaka ga Bobi Wine galumbiddwa era abakuumi be ne bakwatibwa.” Enanga bw’annyonnyodde.
Poliisi egamba nti tebannalumba ku maka ga Bobi Wine era nga tewali muntu yenna gwe bakutte.
Okusinziira ku poliisi balina obuvunaanyizibwa okukuuma Kyagulanyi era nga batadde emisanvu ku nguudo zonna ezituuka ku maka ge.
“Leero ku makya, emisanvu gye twali twateeka ku makubo agatuuka ewa Bobi Wine tugiggyeewo nga bwe twongera okutereeza ebyokwerinda byaffe mu kitundu kino.” Poliisi bw’egasseeko.