Bya Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Minisita wa Kabaka ow’ebyobuwangwa n’ennon, Owek. David Kyewalabye Male, aweze nti tebagenda kuddamu kuwa bbaluwa ntongole eri omwogezi w’emikolo singa taabe muwandiise.
Bino Owek. Male abyogeredde mu Bulange e Mmengo, Olwaleero bw’abadde atongoza okuwandiisa aboogezi b’oku mikolo okugenda okumala ennaku 14, kiyambeko okutaasa obuwangwa n’ennono.
“Teri muntu agenda kukola mukolo mu myezi ebiri n’afuna ebbaluwa entongole eva wano nga si muwandiise, mbawadde obudde obumala togenda kugiggyayo mu Majestic.” Owek. Male bw’agambye.
Owek. Male ategeezezza nti aboogezi b’oku mikolo bonna bagenda kusomesebwa era bamanye ekituufu ekirina okukolebwa basobole okulung’amya bannannyini mikolo gye babeera bagenze. Okusinziira ku Minisita Kyewalabye, singa aboogezi banaagenda mu maaso n’okujeemera amateeka gano, bajja kukangavvulwa mu ngeri esoboka kuba baweereddwa akadde akamala. Owek. Male annyonnyodde nti amateeka amaggya agatangira okumansa ssente awamu n’ebikolwa ebirala tegasosola n’abakungu awamu n’abeebitiibwa, gabakwatako kuba abamu beenyigira mu muze guno.
Kino kiddiridde okuvvoola ennono n’obuwangwa bwa Buganda ku mikolo egy’ennono nga bamansa ssente n’okuzina amazina agaweebuula naddala okwanjula, embaga okukyala, ennyimbe n’ebirala.
Kinajjukirwa nti Ssabbiiti ewedde olukiiko lwa Buganda lwasemba ekiteeso ky’okulung’amya aboogezi b’oku mikolo, kiyambe okutangira okutyoboola ennono wamu n’obuwangwa ekyeyolese ennyo ensangi zino.
Abakiise mu Bwabakabaka, omusango ogusinga baguteeka ku boogezi b’emikolo olw’okulemwa okulung’amya obulungi. Ssentebe w’abalung’amya b’emikolo mu Buganda, Ssonko Ssembatya, agamba nti okusoomoozebwa we kuli kwe kutambuza emikolo egy’enono nga tegityoboddwa mu ngeri etambula n’omulembe
Ate ye Ssentebe w’ababaka abava mu Buganda era yaliko omulungamya w’oku mikol, Muyanja Ssennyonga, alaze nti okucamuukirira wamu n’omulembe, by’onoonye embeera. Ssennyonga yennyamidde olw’okuba nti obuwangwa obulala busigadde ku nnono zaabwe kyokka nga mu Buganda ebintu byongera kwonooneka.
Bo abalung’amya b’emikolo bategeezezza nti ekizibu kivudde ku kitone ky’okwogerera emikolo okufuuka omulimu wamu n’abantu okukoppa ennyo ebintu bye bagamba nti byebiri ku mulembe.