Bya Stephen Kulubasi
Bulange – Mmengo
Katikkiro wa Buganda, Owek. Charles Peter Mayiga, asabye bannayuganda obuteewala kubagema Ssennyiga kolona nga beesigama ku bulimba obusaasaanyizibwa ku mikutu gimugattabantu. “Amawanga agaakula tegasobola kututta nga gakozesa ddagala lya Ssennyiga ate nga nabo balikozesa, era akugamba nti abazungu basobola okutta bakaddugala okuyita mu ddagala lino aba mulimba kkungwa.” Katikkiro bw’agambye.
Okwogera bino Katikkiro asinzidde ku mbuga y’Obwakabaka enkulu e Mmengo, mu bimuli bya Bulange bw’abadde agenze okukubibwa empiso esooka mu kugema ekirwadde kya kolona.
Mukuumaddamula ajunguludde ebigambibwa nti eddagala erigema Ssennyiga kolona erya Astra Zeneca bamagulumeeru baalikola kulemesa baddugavu kuzaala. Agambye nti singa balina ekigendererwa kino baali basobola okuyita mu bika by’eddagala ebirala nga Panadol.
Mu kwongera okuzibula abantu amaaso, Owek. Mayiga agambye nti abazungu beetaaga nnyo abaddugavu kubanga be babakolera emirimu gye beenyinyala n’egyo egyetaagisa amaanyi ng’okulima n’okusima zaabu so ate ng’abaddugavu katale k’amaanyi eri ebyo ebikolebwa mu nsi ezakula.
Katikkiro asinzidde wano n’akunga abantu okwettanira okugemebwa ekirwadde kya kolona era n’abajjukiza okugenda mu maaso n’okugoberera ebiragiro ebyateekebwawo okutangira ekirwadde kino kinnamuzisa.
Bw’abadde ayaniriza Katikkiro, Minisita wa Buganda ow’ebyobulamu, Owek. Prosperous Nankindu Kavuma, yeebazizza Katikkiro okukkiriza okumugemera mu lujjudde n’ategeeza nti kano kabonero akalaga nti eddagala erigemesebwa teririna buzibu ate kiraga nti Obuganda bukkiririza mu nteekateeka eno.
Okugema ekirwadde kya kolona kugenda mu maaso ku Bulange e Mmengo nga kwabwereere era abantu bakubirizibwa okwogera okujjumbira. Buli muntu akubibwa empiso bbiri mu kugema Ssennyiga kolona wabula ey’ookubiri omuntu emukubibwa oluvannyuma lwa Ssabbiiti 8 okuva ku mpiso eyasooka.
Ate ye Minisita Noah Kiyimba asiimye Katikkiro Mayiga olw’okujjukiza abantu bulijjo okwetangira ekirwadde kya Ssennyiga Corona.