• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Temutya buvunaanyizibwa bwa bufumbo – Katikkiro Mayiga

Gambuuze by Gambuuze
February 14, 2026
in Amawulire
0 0
0
Temutya buvunaanyizibwa bwa bufumbo – Katikkiro Mayiga
0
SHARES
10
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Samuel Stuart Jjingo

Kawempe – Kyaddondo

Katikkiro Charles Peter Mayiga azzeemu okukubiriza abantu obutatya bufumbo olw’obuvunanyizibwa obubulimu.

Kamalabyonna asinzidde mu Ekelezia y’Omutukuvu Charles Lwanga e Jinja Kalooli-Kawempe mu mmisa y’okwebaza Katonda olw’emyaka 25 egy’obufumbo bwa Omuk. Solome Nassejje n’omwami we Andrew Luyombo. Mmisa ekulembeddwamu Ssaabasumba Paul Ssemwogerere.

Owoomumbuga agamba nti obufumbo kitegeeza buvunaanyizibwa, era omuntu atuuka mu myaka gy’obufumbo ate n’abwesamba alabibwa ng’atalina oba atidde obuvunaanyizibwa.

“Obufumbo ze zimu ku mbeera ezisinga okuba ez’obuvunanyizibwa mu bulamu obw’omuntu yenna era wano mu Buganda, abasajja abatawasa osanga batono abakola ebitegerekeka ate omukyala atafumbirwa aba ayitibwa nakyeyombekedde” Mayiga.

Katikkiro asambaze ebyogerebwa abantu nti oli bw’akuba embaga bwe buba obufumbo, agamba kino ssi kituufu, waliwo enjawulo ku bufumbo n’embaga.

“Waliwo enjawulo nnene nnyo wakati w’embaga n’obufumbo. Embaga mukolo bukolo naye obufumbo mulimu, bulinga ekkolero lya ssukaali kubanga buli kaseera oberaako ky’oyongeramu.” Mayiga bw’anyonyodde.

Ssaabasumba Paul Ssemogerere yebaziza Katonda olw’obulamu bw’awadde abagole bano, n’okukkiriza kw’abawadde okubeera nga bakyali bombiriri okutuusa kati ky’agambye nti ekiwa abantu abalala ekifanaanyi ekirungi ku bufumbo.

“Ensonga y’okujaguza ssi ya kusaaga wadde okweraga wabula kyogerwako ne mu kitabo ekitukuvu ekya Bayibuli ate okunganya emikwano egiba girudde ebbanga nga tegisisinkana,” Ssaabasumba Ssemogerere.

Mw. Luyombo yebaziza nnyo mukyala we olw’okussa ekitiibwa mu maka gaabwe nga takuliriza buvunanyizibwa bw’alimu mu mirimu n’okuwereza okw’enjawulo agamba kino ky’ekisinze okukuuma amaka gaabwe.

Abagole bakubye ebirayiro okwongera okunyweza omukwano n’obufumbo bwabwe ne beyama okwongera okwagalana paka Katonda nga asazeewo era basonyiwaganye byonna buli omu kye yakola munne.

Omuk. Solome Nassejje ye Mumyuka wa Ssentebe wa bboodi ya leediyo ya Ssaabasajja Kabaka CBS ate Mw. Andrew Luyombo ye Ssaabakristu w’ekigo ky’e Jinja-Kalooli.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist