Bya Gerald Mulindwa
Mawogola
Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga, asabye abantu obutalonda babaka batiiririra nsonga za Buganda mu palamenti. Okwogera bino Katikkiro abadde mukuziika kitaawe w’omubaka Joseph Sekabiito, Omulangira Kitayimbwa e Ndaiga mu Mawogola ku Lwokuna.
Katikkiro Mayiga yagambye nti, “Saagala munnabyabufuzi yekokoota, Saagala munnabyabufuzi yekweka Kabaka. Mumiransanafu yali alegeddwamu mmundu abalala baba balegeddwamu bikoola bya miti nebadduka. Temutuleetera babaka ba palamenti abekweka nga ensonga za Buganda ziri mu ddiiro”
Kamalabyonna yanyonyodde nga bwewaliwo ebisomooza omulembe Omutebi naye abantu bulijjo okunoonya ekituufu era bakinywerereko.
Mayiga yatendereza obuvumu obwayolesebwa Omulangira Kitayimbwa ne banne bwebakweka n’okutolosa Ssekabaka Muteesa II mu kaseera Obote weyamunoonyeza nga ayagala okumutta, asabye abantu bulijjo okumutwala nga eky’okulabirako.
Ate yye omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda Patrick Luwagga Mugumbule, omugenzi yamwogeddeko nga omusajja omuvumu era nasaba Buganda ekkirize erinnya Mumiransanafu lifuuke kitibwa asobole okwongera okujjukirwa.
Ku lw’abaana b’omugenzi omubaka Joseph Ssekabiito yasiimye Ssaabasajja olw’okubasaasira era nasiima abantu abesombye okuva mubuli kanyomerero okujja okubaziikirako.
Sipiika wa Palamenti Rebecca Kadaga mu bubaka bwe bweyatisse omubaka wa Nakasongola Mutebi Noah Wanzala, yasaasidde nnyo ab’enju eno era nategeeza nti ebyo byeyakola bwebirina okugumya ab’enju eno era bafube okutwala omukululo gwalese.
Ekitambiro ky’emmisa ekyawerekedde omugenzi kyakulembeddwamu Omusumba we Masaka Serverus Jjumba eyasabye abakungubazi okuyigira ku mugenzi.
Omukolo gwetabiddwako Minisita Noah Kiyimba, Pookino, omukiise wa Kooki mu Lukiiko lwa Buganda Owek Gertrude Ssebugwawo n’ Omwami w’essaza Mawogola, Hajji Nohamood Sserwadda.
Abalala kwabaddeko; Kaggo eyawummula Tofiri Malokweza, Abaami ba Kabaka ku mitendera gyonna, bannabyabufuzi, bannaddiini n’abantu abalala bangi.