Bya Musasi Waffe
Emisinde gya Ssaabasajja Kabaka egijjukira amazaalibwa ge gyajjumbiddwa mu bungi mu masaza okuli; Kyaggwe, Ssingo ne Mawogola ng’eno abantu ba Kabaka abaabadde beetimbye emijoozi emimyufu, badduse awamu n’okubunyisa enjiri y’okulwanyisa Mukenenya
E Mawogola, abeeno baakedde kudduka era omwami wa Kabaka atwala esazza lino, Muteesa Muhammad Sserwadda ng’ayambibwako omumyuka we, Suzan Namukwaya yasimbudde abantu b’Empologoma.
Omubaka omukyala ow’e Mawogola, Mary Begumisa yabadde omuddusi omukulu okuva mu ggombolola y’e Lwebitakuli era yeeyanzizza Maasomoogi olwokutakabanira enkulaakulana mu bantu be buli kaseera.
Ekyabadde e Kyaggwe
Bannakyaggwe nabo bajjumbidde emisnde gino ng’abaddusi abamu baakung’aanidde ku kitebe ky’essaza lino ekisangibwa ku kyalo Ggulu e Mukono so ng’abalala ba ggombolola ez’enjawulo. Ku kitebe ky’eggombolola Mituba 4, omwami Vincent Matovu wamu n’omubaka w’ekibuga Mukono, Betty Nambooze Bakireke baasoose kubasomesa kirwadde kya Mukenenya.
Abaliko obulemu nabo tebaalutumiddwa mwana era akulira abavubuka, Teopista Nattabi yakunze abantu bonna okwewala okuwatibwa Mukenenya, so nga n’abasawo b’ekinnansi abaakungaanidde Ttaka -Jjunge, baasabye basawo bannaabwe okukomya omuze ogwokusobya ku baana b’abalwadde ababa bagenze okujjanjabwa mu masabo gaabwe.
Mu ggombolola y’e Nakisunga, emisinde gyabwe gyasimbuddwa omumyuka wa Mutuba 1 Ssekamatte Ronald era abantu ne balaga essanyu olwokwetaba mu misinde gino .
Mawokota yawuumye
E Mawokota, eggombolola zonna ezikola essaza Mawokota abaayo baabukeerezza nkokola okwetaba mu misinde gino.
Mu ggombolola ya Mutuba1, omwami wa Kabaka, Muwanga Edward yakulembeddemu abaayo. Abaana abato nabo badduse era wano Mmeeya w’ekibuga Mpigi, Mutebi David yasabye abantu okwongera okwettanira ensonga z’Embuga .
Ssingo
Mu ssaza ssingo, emisinde gyasimbuddwa ku mbuga y’essaza era nga Mukwenda eyawummula, Hajji Baker Magala yagisimbudde era yasabye abasajja n’abakazi bonna okubeera abasaale mu kulwanyisa Mukenenya.
Ate ye Mukwenda David Nantajja yakubirizza abantu b’Omutanda okwettanira amalwaliro bwe baba bafunyeemu enkenyera basobole okutaasibwa.
Mu ggombolola ya Buleera Musaale, amyuka ssentebe wa NRM mu Buganda, Godfrey Kiwanda Ssuubi wamu n’ababaka ba Palamenti nabo beetabye mu misinde gino.