
Bya Ssemakula John
Kampala – Kyaddondo
Omwogezi w’ekibiina ki ‘Forum for Democratic Change(FDC)’, Ibrahim Ssemujju Nganda, ategeezezza nti gavumenti eri mubuyinza okuggwamu ensa kye kireese abantu okugirumiriza buli kimu omuli nebyo byetakoze.
Ebigambo bino Ssemujju yabyogeredde wakati nga abamu ku bantu bagenda mu maaso n’okukakasa nga abadde Sipiika Jacob Oulanyah bweyaweebwa obutwa wadde kino Nganda akiwakanya.
“ Sirowooza nti Jacob Oulanyah yaweebwa butwa, abadde mulwadde okumala ebbanga ddene naye bw’owangaalira munsi gavumenti gyetirimbula abantu baayo, ebigambo nga obutwa birina okubaawo,” Ssemujju bwe yannyonnyodde.
Ssemujju yagasseeko nti omuntu yenna okumukkirizisa nti Oulanyah yafudde butwa alina okuleeta obujulizi obwesimba kuba akimanyi nti Abafirika gyebuva negyebukoma tebakkiriza nti omuntu asobola okwefiira.
Bweyabadde ku leediyo ya Capital FM ey’ebyobufuzi ku Lwomukaaga, amyuka ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) mu Buganda, Godfrey Kiwanda yakakasizza nti Oulanyah yamugamba nti yali yaweebwa obutwa nasaba ensonga eno ereme kubuusibwa maaso.
“Siyawukana nandowooza ya taata w’Oulanyah eyategeezezza nti mutabani we yaweebwa obutwa kuba nange omugenzi Oulanyah yang’amba nti yaweebwa obutwa,” Kiwanda bwe yagambye.
Wabula Minisita w’ebyamawulire, Chris Baryomunsi yayambalidde Kiwanda nategeeza namubuuza kyeyakolawo era lwaki ayogera kati nga Oulanyah amaze okufa.
Kinajjukirwa nti bweyali mukuziika Oulanyah, kitaawe Nathan Okori, yakiddamu nakakasa nti mutabani we yali aweereddwa obutwa.









