• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Ssegiriinya ne Ssewanyana baasuubiza ab’ebijambiya ssente – Poliisi

Gambuuze by Gambuuze
September 6, 2021
in Amawulire
0 0
0
Ssegiriinya ne Ssewanyana baasuubiza ab’ebijambiya ssente – Poliisi
0
SHARES
142
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Kampala

Poliisi y’eggwanga etegeezezza nti ababaka okuli Allan Ssewanyana owa Makindye West ne Muhammad Ssegiriinya owa Kawempe North, baasuubiza abatemu b’ebijambiya ssente era babadde bategeka n’okukola obutemu bwe bumu mu Kampala.

Ekitebe ekikulira okunoonyereza mu poliisi, ssabbiiti ewedde kyakakasa nga bwe baliko abantu  be baakwata ne babaggyako siteetimenti ku ttemu ly’ebijambiya era bano ne balumiriza ng’omubaka Ssewanyana ne Ssegiriinya bwe babirinamu omukono.

Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire leero ku Mmande, omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga ategeezezza nti ababaka bano baliko enkiiko ze batuuza mu Ndeeba mu Kampala okutegeka bwe bayinza okulumba bannakampala.

“Abakwate batutegeezezza nti baabasuubiza obugagga era be babadde babaduumira. Tugenda kuggya siteetimenti ku babaka bano bombi kuba be bali emabega w’obutemu buno.” Enanga bw’annyonnyodde.

Ssabbiiti ewedde, Minisita omubeezi ow’ensonga ezoomunda, Gen David Muhoozi  ebikolwa bino yabiteeka ku butujju n’ategeeza nti ekigendererwa kyakuteeka kutya mu bannansi.

Enanga naye Ssegiriinya ne Ssewanyana abalumirizza okwagala okutemula abantu n’ekigendererwa eky’okutabangula eggwanga nga bateeka okutya mu bantu.

Ono agamba nti bakutte abantu abawera 23 era ku bano 11 baamaze dda okusimbibwa mu kkooti ate ng’abalala balinze kutwalibwayo bavunaanibwe.

Okusinziira ku Enanga bali mu kunoonyereza ku nsonga y’ebibaluwa ebisuulibwa mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo okuli; Kampala, Wakiso ne Mityana.

Enanga asabye abantu okubeera ku bwerinde era singa babaako ensonga yonna gye beekengedde bategeeze poliisi mu bwangu era nabo bennyini beerwaneko ng’abeebijambiya babalumbye.

Kinajjukirwa nti Pulezidenti Museveni ssabbiiti ewedde yavaayo n’alabula nga bw’agenda okukola ku muntu yenna ali emabega w’ettemu lino.

Guno gwe mulundi ogwokubiri ng’ettemu ery’ekika kino libalukamu mu kitundu ky’e Masaka ng’eryasooka lyaliwo mu mwaka 2018.

Share this:

  • Twitter
  • Tumblr
  • Pinterest
  • Pocket
  • WhatsApp
  • Skype
  • Telegram
  • LinkedIn
Tags: Allan SsewanyanaFred EnangaMuhammad Ssegiriinya
  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist