Bya Stephen Kulubasi
Masaka
Ssaabasajja Kabaka asaasidde abakulisitu mu Eklezia Katolika, ab’ekika kye Mbogo awamu ne bannayuganda bonna olw’okufa kw’omusumba w’e Masaka eyawummula John Baptist Kaggwa.
Nga ayita mu bubaka bwe obumusomeddwa Kamalabyonna Charles Peter Mayiga, Omutanda amwogeddeko nga omuntu abadde alungamya abantu be awatali kutya kwonna era eddoboozi ly’abantu bonna era abadde ayagala ennyo ekika kye.
Beene ayogedde okusaasira omukulu w’ekika kye Mbogo Omutaka Kayiira Gajuule awamu ne bannayuganda bonna.
Ate ku lulwe Katikkiro Mayiga ayogedde ku mugenzi nga omusajja abadde akola omulimu ogwetendo okulyowa emyoyo gy’abantu ba Katonda wamu nokulwanirira obwenkanya mu bantu bano.
Omusumba Kaggwa aziikiddwa olunaku lwa leero mu Seminaliyo ye Bukalasa era nga ekitambiro kya mmisa ekimusiibula kikulembeddwamu gukulembeddwamu Ssentebe w’olukiiko lw’abasumba mu Uganda, omusumba Anthony Zziwa.
Abasumba ab’enjawulo basiimye omugenzi nga omusumba abadde awereza n’okwagala mu keleziya ya Uganda n’eyensi yonna era nti abadde afaayo okulabirira endiga za mukama mu mbeera yonna.
Bano banokoddeyo ebirungi munnabwe byeyakola omuli okuggulawo obusumba n’amatendekero mu bitundu eby’enjawulo,okubeera omulwanirizi w’eddembe, emirembe kwossa amazima n’obwenkanya ate nga kwotadde n’okubeera omugunjuzi w’abasaaseredooti.
Omusumba zziwa yeebazizza olw’ obukozi bw’omusumba Kaggwa nawa n’ekyokulabirako mbu ebiseera nga yakulira sseminariyo y’omutume Mbaaga nti ono yavuganga engendo empaavu nga akozesa loole asobole okutuusa ebyetaago nga emmere eri baakulembera.
“Mukama awadde omusumba kaggwa ebitone bingi era abitulekedde tulabireko” omusumba Zziwa bweyategezezza era nasaba abantu okujjukira omugenzi nga bateeka byabayigiriza mu nkola.
Omusumba Kaggwa yali omusumba we ssaza ly’emasaka okumala emyaka 20. Era ye yadda mu bigere by’omusumba omugenzi Adrian Kivumbi Ddungu sso nga ate yye yasikirwa omusumba Serverus Jjumba, afiiridde ku myaka 77.