• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Ssaabasajja atongozza Kabaka Foundation Boston Chapter, asiimye abantu be abawangaalira emitala Mayanja

Gambuuze by Gambuuze
September 16, 2024
in Amawulire
0 0
0
Ssaabasajja atongozza Kabaka Foundation Boston Chapter, asiimye abantu be abawangaalira emitala Mayanja
0
SHARES
26
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

 Massachusetts. Sasaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye abantu be ababeera emitala w’amayanja kwossa abaagaliza Obuganda ebirungi, olw’okuwagira enteekateeka z’Obwakabaka ezigendererwamu okutumbula obulamu bw’abantu. Obubaka bwa Ssaabasajja Kabaka busomeddwa Omulangira Crispus Jjunju Kiweewa bw’abadde atongoza ettabi lya Kabaka Foundation e Massachusetts Boston mu Ssaza lya Kabaka erya New  England mu ggwanga ly’America. Omukolo guno gubadde ku Crown Plaza Hotel esangibwa mu kibuga Woburn e Massachusetts. 

Ku mukolo guno, Omulangira Jjunju era atongozza Bboodi ya Kabaka Foundation ekulemberwa Omw. Ssentongo James era nebakuba ebirayiro okuweereza Ssaabasajja awatali kumutiiririra.Ebimu ku bigendererwa bya Kabaka Foundation kwe kuzimba essomero li ‘Kabaka Foundation Academy’ okusobozesa abaana abali mu migotteko okusoma kwossa okutumbula eby’obulamu mu Buganda.Enteekateeka eno ey’okuzza abaana abawangaalira mu mugotteko mu masomero Nnyinimu agenda kugitandikira mu kitundu kye Kinnawataka e Kireka ng’eno omuwendo gw’abaana abatasoma  guli waggulu nnyo. Okusinziira kukunoonyereza okwakolebwa ekitongole ki ekitongole ki kabaka foundation gyebuvuddeko, omuwendo gw’abaana be Kinnawattaka abatasoma gusukka mu 2286 .Beene era asiimye abavubuka bonna mu Buganda ne mu masaza ge agali ebweru wa Buganda olw’obumu bwebazze boolesa eri Nnamulondo bwatyo era abalagidde obutaddirira.

Ssenkulu wa Kabaka Foundation Omuk. Edward Kaggwa  Ndagala alaze obwetaavu obuli mu kutumbula eby’enjigiriza n’ebyobulamu bw’abantu ba Nnamunswa. Omubaka wa Ssaabasajja mu Ssaza lya New England Boston USA, Owek. Henry Ndawula Matovu ku lw’abantu ba Kabaka e Boston yeyamye okwongera okuwagira enteekateeka z’Obwakabaka zonna Buganda etuuke ku ntikkoOmwami wa Kabaka amulamulirako essaza li New England Boston USA Owek. Henry Ndawula Matovu yeyamye ku lw’abantu ba Kalalankoma abali mu ssaza lino nti bajja kuwagira enteekateeka za Maasomoogi zonna. Kinajjukirwa nti Omutanda azze atongoza amatabi g’ekitongole kye ki Kabaka foundation mu masaza ge agasangibwa ebweru wa buganda okuli elya UAE , Bungereza, Sweden, Norway n’amalala nga gano gaze gagondera ekiragiro gy’okuvujjirira ekitongole kino okutuukiriza enteekateeka za Ssemunywa ez’okutumbula embeera z’abantu abawangalira mu mugoteko.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist