• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Ssaabasajja  akungubagidde omukadde omukazi azaalira Katikkiro omukyala

Gambuuze by Gambuuze
June 5, 2021
in Amawulire
0 0
0
Ssaabasajja  akungubagidde omukadde omukazi azaalira Katikkiro omukyala
0
SHARES
211
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Bukomansimbi

Ssaabasajja Kabaka akungubagidde omukadde omukazi azaalira Katikkiro omukyala, kati omugenzi Robinah Nagawa Walakira aziikiddwa ku kyalo Kawoko e Bukomansimbi ku Lwomukaaga

Mu bubaka bwe bwatisse  omumyuka w’Omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda,  Owekitiibwa Ahmed Lwasa, ategeezezza nga omugenzi bw’abadde empagi mu bulamu bwa mukyala Margret Mayiga era nasaasira Katikkiro Mayiga ne mukyala we Margret olw’okuvibwako maama.

Ate ye Kattikiro wa Buganda Owek.Charles Peter Mayiga  yeebazizza abakadde abamuzaalira omukyala olw’okumukuza nga muntu mulamu era omugumiikiriza.

“Kyannaku nti maama agenze naye kya mukisa nti ensigo gyeyasiga yabala ate n’abaana mu bawulidde nti bajja kwongera okugifukirira esobole okubala,” Kamalabyonna Mayiga bw’ategeezezza.

Ye akulira ekibiina ky’ebyobufuzi ekya National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi Ssentamu asinzidde mu kuziika kuno nasaba abavubuka naddala abali ku mutimbagano okwewala okuvvoola ekitibwa kya Buganda kuba kino kyongera okutematema mu bannayuganda.

Ono avumiridde ettemu erisusse mu ggwanga era naloopera Katikkiro Mayiga nga bwewaliwo olukwe okusanyawo abantu ab’eggwanga erimu mu Buganda nga kino kizze kyeyolekera mu kutemula abantu abanene abava mu kitundu.

Akulira oludda oluvuganya mu Palamenti, Omubaka Mathias Mpuuga Nsamba ategeezezza nti maama ono ye yasobola okusiga ensigo ennamu mu mukyala afumba ewa Katikkiro Mayiga era asobodde okumutuusa ku binene.

Ono asabye abavubuka okulinnyisa omutindo basobole okuziba emyaganya egivaamu abantu abakulu, bakome okwebala mu bungi naye batandike okukola eby’ensonga.

Omukolo guno gwetabiddwako baminisita ba Kabaka, ababaka ba Palamenti, abamasaza awamu n’abantu abalala.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist