Bya Ssemakula John
Kampala
Ssaabalamuzi Alfonse Owiny Dollo agaanye okuva mu musango gwa Robert Kyagulanyi gwe yawaba ng’awakanya obuwanguzi bwapulezidenti Yoweri Museveni mu kalulu ka 2021.
Munnamateeka Male Mabirizi yawandiikira Ssaabalamuzi Alfonse Owiny- Dollo ng’amusaba okuva mu musango gwa Kyagulanyi kuba yaliko looya wa Museveni mu 2006 nga Dr. Kizza Besigye awakanya obuwanguzi bwa Museveni.
Amakya ga leero ku Lwokubiri, Ssaabalamuzi ategeezezza nti awuliriza bulungi okusaba kwa Mabirizi naye tagenda kuva mu musango guno.
“Mpuliriza bulungi okusaba kw’omuwaabi era ensonga azisengese bulungi naye olw’ensonga zange ze nzija okuwa mu maaso awo, sigenda kuva mu musango guno kuba siraba nsonga lwaki nguvaamu.” Ssaabalamuzi Owiny Dollo bw’agambye enkya ya leero.
Mu mpaaba ye Male Mabirizi ategeezezza kkooti nti Ssaabalamuzi talina kubeera ku balamuzi omwenda abalina okuwulira omusango gwa Kyagulanyi kuba yali munnamateeka we mu 2006 mu musango ogufaanana bweguti.
“Tagenda kwetengerera kuba yali looya wa muwawaabirwa mu 2006. Kitegeeza ebyo bye yayitamu ng’awolereza Museveni mu 2006 tebisobola kumukkiriza kubeera mwenkanya mu musango guno era tasobola gusalira yali mukama we.” Mabirizi bw’annyonnyodde.
Ono agattako nti Ssaabalamuzi azze asisinkana Pulezidenti Museveni enfunda eziwera era n’ategeeza nti abantu bamulaba ng’alina kyekubiira mu musango guno.
“Abalamuzi basobola okwetegerera naye ate tulina okulowooza ku bantu kye balowooza. Abantu bakimanyi nti abadde agenda ewa Museveni era omuntu yenna asobola okukiraba.” Mabirizi bw’agasseeko.
Abalamuzi ba kkooti eno abawera 9 batadde Mabirizi mu kaseera akazibu abakakase oba Ssaabalamuzi Museveni yamusisinkana ku nsonga ze ng’omuntu oba kyali kikwata ku kitongole ekiramuzi ky’akulembera.
Mu kwanukula Mabirizi ategeezezza nti si nsonga oba ensisikano yali ekwata ku kitongole kiramuzi oba nedda kuba abantu balowooza bulala. Bino we bijjidde nga Kyagulanyi Ssentamu yaakalangirira nga bw’aggyeeyo omusango gwe mw’awakanyiza obuwanguzi bwa Museveni ng’agamba abalamuzi balina kyekubiira.
Wabula Kyagulanyi tannaba kuwandiikira kkooti mu butongole ng’agisaba okuggyayo omusango.