Bya Ssemakula John
Kampala
Ssaabalabirizi Stephen Samuel Kaziimba akungubagidde omulabirizi wa North Kigezi, Rt. Rev Benon Magezi.
Magezi yafudde kawungeezi k’eggulo oluvannyuma lwa Ssabbiiti nnamba ng’azuuliddwamu ekirwadde kya COVID-19 n’atwalibwa mu ddwaliro ekkulu e Mbarara gy’abadde ajjanjabirwa.
Magezi yatuuzibwa ng’Omulabirizi nga January 8, 2017 ku Lutikko ya Emmanuel Cathedral, Kinyasano, Rukungiri.
Okusinziira ku Ssaabalabirizi Kaziimba, ono abadde yakatongoza enteekateeka y’okugaziya Lutikko eno okwongera okubunyisa obukulisitaayo mu kitundu kino.
Amwogeddeko ng’omusajja eyakuzibwa nga mukulisitaayo era abadde tasubwa kusaba awamu n’abennyumba ye.
Magezi nga tannalondebwa nga Bisoopu ye yali omuwanika w’Obulabirizi bwa North Kigezi.
Bino we bijjidde nga Minisitule y’ebyobulamu yaakamala okukakasa nga bannayuganda abawera 25 baafudde ekirwadde kya Ssennyiga Corona ku Ssande nga June 13, 2021.
Okusinziira ku Minisitule eno, kati omuwendo gw’abafudde ekirwadde kino okuva mu myezi gwa March omwaka oguwedde ekirwadde kino lwe kyalangirirwa bawera 459.
Omugenzi Magezi alese Nnamwandu Gladys Magezi n’abaana bataano.