• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Sodo bamuggyeeko kkaadi n’awera, obuwanguzi bwange, bw’abantu si NRM

Gambuuze by Gambuuze
October 16, 2020
in Amawulire
0 0
0
Sodo bamuggyeeko kkaadi n’awera, obuwanguzi bwange, bw’abantu si  NRM
0
SHARES
30
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Noah Kintu

Ssembabule

Munnakibiina kya National Resistance Movement (NRM) abadde yawangula bbendera y’ekibiina mu Mawogola North, kkaadi emuvudde mu ngalo, akakiiko k’ekibiina ak’okuntikko bwekalangiridde nti ekibiina tekirina muntu alina bbendera yaakyo mu kitundu kino.

Wabula bino Aine Kaguta Sodo olubifunye n’ategeeza nti obuwanguzi akyabulina kubanga bw’abantu ba Mawogola so si kibiina kya NRM.

Kino kiddiridde akakiiko akateekebwawo okutunula mu mivuyo egyali mu kamyufu ka NRM okuvaayo nekasazaamu obuwanguzi bwa Sodo era nakalaga ng’akakiiko k’ekibiina ak’okuntikko akamanyiddwa nga CEC bwe kagenda okusalawo ekisembayo ku ani alina okufuna kkaadi wakati wa Muwala wa Minisita Sam Kuteesa, Shartsi Kuteesa ne muganda wa Museveni Sodo Aine Kaguta.

Aine ategeezezza omukutu guno ogwa Gambuuze nti  akakiiko akaateekebwawo okutunula mu mivuyo  kaabayita ku kitebe e Kyaddondo nebatuula era buli omu n’awa ensonga ze lwaki alowooza nti obuwanguzi bubwe.

“Eggulo baatutegeezezza nti akalulu kaalimu akavuyo nebagamba nti olwokuba akalulu kaalimu akavuyo CEC etuule esalawo naye essaawa zaabadde zigenze nga CEC tekyasobola kutuula. Wano yasazeewo nti Mawogola North terina alina kkaadi buli omu ajje ku lulwe, nze obuwanguzi bwa bantu si bwa NRM,” Aine bw’agambye.

Ono annyonnyodde nti kimuluma okubanga yateekamu obudde bwe ng’ayagala afune kkaadi naye mugumu kubanga abamulonda webali era bajja kumuwagira.

Aine asabye abakulu batuule balabe ekizibu wekiva era bakisalire amagezi era banoonye amazima amatuufu we gali kubanga n’akakiiko akaatunula mu kwemulugunya bye kaawandiise byeraga lwatu nti sibyako era nga n’okutwala ssabh biiti ennamba nga tebasalawo ggoye kyali kigenderere.

Ono agambye nti singa yali awanguddwa yali tasobola kujja kuvuganya munne alina kkaadi naye munne bw’aba bw’asazeewo ajje abalonzi basalewo.

Sodo annyonnyodde nti amateeka ga NRM galaga nti singa ebintu ebimu bibeeramu okubibbwa naye ng’abalonze mu bitundu ebirala bakola ebitundu 80 ku buli 100, basobola okulangirirako ebyo, ono agamba nti wadde mu Mawogola North ebitundu ebirala byali biweza ebitundu 95 ku buli 100 era abakulu bagaanye okumulangirira.

Embeera eno ereseewo obunkenke mu kitundu kya Mawogola North wabula Sodo asabye abawagizi be okusigala nga bakakkamu wadde nga bafiiriddwa bbendera naye balinde akabookisi balonde omuntu abali ku mutima.

Abavuganya bano bombi Sodo ne Kuteesa basuubirwa okwewandiisa olunaku lwa leero olwo batandike okuwenja akalulu mu kitundu kino.

Kinajjukirwa nti, ebyava mu kamyufu ka Mawogola North byalaga nti Sodo yakawangula n’enjawulo ya bululu 1,239 oluvannyuma lw’okufuna omugatte gwa 17,343 ate Shartsi Kutesa yali afunye 16,104 ate Salim Kisekka ng’alina 4274.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.