Bya Noah Kintu
Ssembabule – Mawogola
Omubaka wa Pulezidenti e Ssembabule, Ramathan Walugembe, alambudde ettaka lya Kabaka eriweza yiika 49 mu ggombolola ya Ssaabawaali Mijwala eribadde likaayanirwa Omugagga Benon Bulola. Bino we bijjidde nga Minisitule y’ebyettaka yaakamala okufulumya ekiragiro ekiragira Omugagga Bulola okwamuka ettaka lino kuba si lirye era nga lya Bwakabaka era n’esazaamu ebyapa Bulola bye yali yafuna.
RDC Walugembe okulambula ettaka lino kiddiridde Omugagga Bulola okukomba kw’erima n’ategeeza nti ettaka lino lirye era bw’atyo n’asiba abamu ku batuuze omwali ne Muteesa Muhammad Sserwadda ng’abavunaana okusalimbira ku ttaka ly’agamba nti lirye.
Okusinziira ku yali ssentebe w’eggombolola ya Mijwala, Mwesigwa John Churchill, agamba nti ensibuko y’enkaayana zino yava ku disitulikiti kukkiriza kuwa Bulola ttaka lino.
“Disitulikiti Landiboodi kye yakola okuwa Bulola ettaka kyali kikyamu era minisitule ekiwandiiko kye yafulumizza kyakakasirizza ddala obwanannyini nti ettaka lya Buganda.” Mwesigwa bwe yagambye.
Wano RDC w’asinzidde n’alabula bannakigwanyizi abakozesa ebitongole bya gavumenti okwezza ettaka ly’abantu nti kino kye kivuddeko okuvumaganya gavumenti ne Pulezidenti Museveni okuwangula mu bitundu bya Buganda.
Abamu ku bakolera ku ttaka lino, Ddembe Ahmed bannyonnyodde nti ekiwandiiko kya Minisitule kibayambye nnyo kuba Bulola abadde abalabizza ennaku.
Ate Ssaabawaali Mijwala Ssempala John Ssaabwe ono nga y’akiikiridde Muteesa mu kulambula kuno yeebazizza RDC Walugembe okuvaayo n’akoma ku bantu abavumaganya gavumenti n’ebikolwa eby’okutulugunya abantu.