Bya Ssemakula John
Kampala
Omukulembeze w’eggwanga, Yoweri Kaguta Museveni, ayingidde mu nsonga z’akalulu k’e Ntebe akaaviiriddeko omujaasi w’eggye erikuuma Pulezidenti erya ‘Special Forces Commabd (SFC), okukuba omuwagizi essasi eryamusse ate abalala babiri ne bagendera ku bisago.
Eggulo ku Lwokubiri, Maj. Anthony Mbaziira okuva mu SFC yategeezezza abaabadde beekalakaasa nti Pulezidenti Museveni agenda kusisinkana abeesimbyewo aba NRM wamu n’owa Democratic Party (DP), abagamba nti babbiddwako obuwanguzi bwabwe.
“Pulezidenti Museveni ayagala akalulu kaddemu okubalibwa era oyo yenna anaasangibwa nga ye yawangudde akalulu kano, y’agenda okulangirirwa akakiiko k’ebyokulonda. Agenda kusisinkana abaabadde beesimbyewo bonna, abasaba musigale nga muli bakkakkamu.” Maj. Mbaziira bwe yagambye.
Akulira ebyokulonda mu Wakiso, ku Lwokubiri yalangiridde Fabrice Rulinda atalina kibiina nga mmeeya wa Munisipaali y’e Ntebe omulonde, ekintu ekyatabudde abawagizi ba NRM ne DP.
Olwokaano luno lwabaddemu abeesimbyewo 6 okuli; Vincent Kayanja Depaul owa DP, Mohammad Kawuma atalina kibiina, Fabrice Rulinda atalina kibiina, Micheal Mutebi owa NRM ne Kenneth Ssimbwa owa ANT.
Oluvannyuma lw’okulangirira Rulinda nti y’awangudde, abawagizi ba NRM ne DP batabuse nga bagamba nti tekisoboka kuba Rulinda yabadde akutte ekifo kyakusatu era wano baatandise okwekalakaasa amagye agakuuma omukulembeze w’eggwanga ne galeetebwa okukakkanya embeera.
Wakati ng’abapoliisi bagobagana n’abeebyokwerinda, amasasi gaakutte ssentebe wa NRM owa Kitubulu – Katabi, Eric Kyeyune era n’afiirawo ate n’abalala babiri ne batwalibwa mu malwaliro nga bali bubi.