• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Poliisi yeezoobye n’abavubuka mu kwewandiisa kwa Baloodimmeeya

Gambuuze by Gambuuze
September 30, 2020
in Amawulire
0 0
0
Poliisi yeezoobye n’abavubuka mu kwewandiisa kwa Baloodimmeeya
0
SHARES
14
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John
Ntinda

Abeesimbyewo ku Bwaloodimmeeya ab’enjawulo, bakedde kwetegeka kugenda Ntinda mu Kampala ku kakiiko k’ebyokulonda, we babadde beewandiisiza.

Poliisi nga yezooba n’abavubuka ba Erias Lukwago

Embeera eno ey’obunkenke yeewalirizza Poliisi okunyweza eby’okwerinda okwetooloola woofiisi zino era nga ku mulyango oguyingira ekifo kino, poliisi ebadde esimbyewo kabangali yaayo ng’ekubyeko abapoliisi. Obwedda buli asemberera ekifo kino ng’amala kwennyonnyolako wa gy’alaga nekyagenda okukolayo.

Mu kaweefube w’okunyweza eby’okwerinda, enguudo zonna ezituuka ku kifo kino ziggaddwa era obudde gye bwakomye okusemberera essaawa eyalagidde obunkenke nebweyongera.

Omuloodi wa Kampala, Erias Lukwago bw’atuuse mu kifo kino ng’awerekerwako ekibinja ky’abavubuka ababadde baagala okumutuusa ku ggeeti eyingira woofiisi zino, era wano poliisi egezezzaako nnyo okutangira abavubuka bano okugenda naye era okukkakkana nga beezoobye.

Ono asembeddwa ababaka Mubarack Munyagwa ne Micheal Kabaziguruka oluvannyuma lw’omukungu w’akakiiko k’ebyokulonda okukasa nti buli kye beetaaga akirina.

Ono asinzidde wano n’atabukira akakiiko k’ebyokulonda k’agamba nti kalemeddwa okutegeka akalulu kano aka Ssaayansi.

“Kibadde tekyetaagisa kukuba bantu kubanga abawagizi bange babadde bamperekera mu mirembe naye obwedda batukubamu ttiyaggaasi nga ate bakimanyi nti olunaku luno lwateekebwawo kwewandiisa era lubadde lumanyiddwa, era balina okutwetondera, Lukwago bw’agambye.”

Lukwago abadde awerekerwako akola nga Pulezidenti wa FDC, Owek. Joyce Nabbosa Ssebuggwaawo, Ssaabawandiisi wa FDC Harold Kaija, Omubaka Ssemujju Nganda, awamu n’abalala.

Omuloodi ategeezezza nti omulundi guno essira agenda okuliteeka mu kuzimba obutale n’okunoonyeza bannakampala emirimu.

Lukwago oluseetudde ebigere olwo munnakibiina kya NUP, Nabillah Naggayi Ssempala n’atuuka era naye n’akakasibwa okwesimbawo ku bwaloodimmeeya. Ono ategeezezza bannamawulire nti ekisinze okumuleeta kwe kulaba ng’awangula emitima gya Bannayuganda.

Omuyimbi Joseph Mayanja (Jose Chameleone) naye atuuse okwewandiisa era ono asannyalazz akabuga k’e Ntinda olw’abantu abangi ababadde bakung’aana okumubuuzaako era olumaze okukakasibwa n’awera nga bw’agenda okuwangula akalulu kano.

Mayanja akakasizza nga bw’agenda okulwana okutondawo emirimu singa bannakampala bamuwa omukisa okubakulembera era nga mwetegefu okusakira ekibuga wamu n’okukulaakulanya ebitone mu bitundu by’ekibuga ebyenjawulo.

”Ekiri mu Agenda yange, nkulaakulana, nkyukakyuka, bw’otunuulira abakulu abali mu woofiisi bagamba gavumenti yabalemesa okukola emirimu, gavumenti tekugaanangako kuleeta bamusigansimbi, tekugaanangako kulambula mirimu kulaba oba gikoleddwa, tekugaanangako kukulaakulanya bantu, oba gavumenti yakugaana okukola ate omusaala otwala gwaki?” Mayanja bw’abuuzizza.

Abalala abeesimbyewo okuli Munnakibiina ki NRM Daniel Kazibwe amanyiddwa nga Raggae Dee ne Munnakibiina kya DP Beatrice Kayanja basuubira okwewandiisa olunaku lw’enkya.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.