Bya Ssemakula John
Kasengejje – Busiro
Poliisi mu bitundu by’e Wakiso eriko aba LDU babiri beekutte ku bigambibwa nti bafunye obutakkaanya n’eyali Pulezidenti w’ekibiina ekitaba bannamawulire ekya ‘Uganda Journalists Association (UJA), Robert Kagolo era nebamukuba amasasi agamusse.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emirilaano, Luke Owyesigire yakakasizza nti Kagolo yattiddwa omu ku ba LDU abaali basindikibwa okukuuma amaka ga mukulu we abadde yawambibwa oluvannyuma nazuulwa nga attiddwa e Kasengejje mu Wakiso.
Owoyesigire agamba nti eyasse Kagolo ye Rashid Mamuli. Kagolo abadde akola ku leediyo ya Star Fm era y’omu ku bannamawulire abakugu mu nsonga za leediyo.
“Kigambibwa nti Kagolo yali yasaba abakuumi ba LDU okuva ku muduumizi era nebamuwa aba LDU 2 bakuume amaka ga muganda we kuba abafamire bonna baali bagenda mu lumbe mu kyalo nga ennyumba ejja kusigalirawo,” Owoyesigire bwe yannyonnyodde.
Okusinziira ku Owoyesigire wabaddewo obutakkanya wakati waba LDU bano ne Kagolo era Mamuli kwekumukuba amasasi nafa nga addusibwa mu ddwaliro lya St. Joseph’s Hospital Wakiso.

Wabula kigambibwa nti muganda wa Kagolo gweyabadde ava okuziika yattiddwa lwa nsonga ezekuusa ku nkaayana z’ettaka era oluvannyuma lw’okuttibwa Kagolo yeewera nga bwali munnamawulire eyakuguka mu nsonga z’okunnoonyereza era nti wakuzuula ekituufu ne baani abatta muganda we.
Abantu ab’enjawulo nga bayita ku mikutu gy’omutimbagano bakyagenda mu maaso n’okuweereza obubaka obukubagiza era ab’oluganda wamu naabo babadde akola nabo mu kitongole kya Uganda Broadcasting Corporation ekitwala leediyo ya Star.fm









