Bya Ssemakula John
Kampala
Poliisi n’eggye ekuumabyalo erya LDU bakedde kuzingako kitebe kya kibiina kya Forum for Democratic Change e Najjanankumbi ku Ntebe Road, wakati ng’akikwatidde bbendera, Patrick Oboi Amuriat ategeka okugenda okwewandiisa.
Bano tebamala gakkiriza muntu yenna kuyingira mu kitebe kino era ng’abamu ku bannakibiina ababadde bakedde ku woofiisi zaabwe balabiddwako nga bawanyisiganya ebisongovu ne poliisi.
Tekinnamanyika lwaki poliisi esazeeko ekitebe kino era nga tennafulumyawo kiwandiiko kyonna kinnyonnyola nsonga eno wadde ng’ababisomera mu bbaasa bagamba nti bano bagezaako kuziyiza bannakibiina kukung’aanira ku kitebe kino, okuwerekera omuntu waabwe nga agenda okwewandiisa.
Kino kiddiridde akwatidde FDC bbendera, Amuriat okutegeeza nga bw’agenda okukulemberamu abawagizi b’ekibiina bonna okugenda e Kyambogo okuwandiisibwa mu ttuntu lya leero.
Eggulo omwogezi w’ekibiina kya FDC, Ibrahim Semujju Nganda, yakalambidde n’ategeeza bannamawulire nti sibaakugondera biragiro bya kakiiko ka byakulonda, n’annyonnyola nti ekitono bagenda kugenda n’abantu 20 so si 10 ng’akakiiko bwe kaalagidde.
Ebisingawo tubireeta.