Bya Ssemakula John
Kampala
Poliisi ya Uganda erabudde abantu bonna abanaalemwa okuteeka ebiragiro bya Ssennyiga Corona mu nkola nti, kajja kubajuutuka ku mulundi guno.
Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire, Fred Enanga, ategeezezza nti abaduumizi ba poliisi bonna baweereddwa ebiragiro okuva ewa Ssaabaduumizi okukwasisa ebiragiro bya Corona, kiyambeko okutangira ekirwadde kino.
Ku Ssande, Pulezidenti Museveni yavuddeyo n’afulumya ebiragiro ebipya omwabadde; okuggala amasomero, okuyimiriza amakkanisa wamu n’abantu okutambula okuva mu disitulikiti emu okugenda mu ndala, okumala ennaku 42.
Enanga annyonnyodde nti abakulira poliisi mu bitundu ebyenjawulo basabiddwa okumanya ebikolebwa mu bitundu bino era bagoberera n’okukwasisa ebiragiro bino mu muggalo guno ogw’ennaku 42.
“Tugenda kukola ku bannayuganda abalagajjavu abagaanye okuteeka ebiragiro bino mu nkola, nga bwe tulinda aba minisitule y’ebyensimbi okulaga ensimbi zino bwe zigenda okusasulwamu. Tugenda kusigala ku nkola enkadde eya Express Penalty System n’okutanzibwa mu kkooti nga bwe tubadde tukola.” Enanga bw’agambye.
Okusinziira ku Enanga ku mulundi guno bagenda kubeera bakambwe n’asaba abantu okunyweza ebiragiro bino okwewala ebiyinza okubatuukako.
Era ku Ssande, Pulezidenti Museveni ng’akolera ku magezi agamuweebwa aba minisitule y’ebyobulamu yalangirira kafyu ku ssaawa 12 eri abavuzi ba boodabooda ne ssaawa 3 ez’ekiro eri ab’emmotoka.
Kinajjukirwa nti ku wiikendi ewedde abantu abawera 1100 bakwatibwa poliisi oluvannyuma lw’okusangibwa mu mabaala nga banywa ekikontana n’ekiragiro kya Minisitule y’ebyobulamu ekyaggala amabaala.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire, yategeezezza nti ebikwekweto bye bali mu kukola ekiro kyakulaba ng’amabaala tegakola.