• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Palamenti ekkirizza omuwendo gwa baminisita okutuuka ku 80

Gambuuze by Gambuuze
June 10, 2021
in Amawulire
0 0
0
Palamenti ekkirizza omuwendo gwa baminisita okutuuka ku 80
0
SHARES
52
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John
Kampala

Palamenti y’e 11 eyisizza ekiteeso ekisemba okwongeza omuwendo gwa baminisita okutuuka ku bantu 80, kisobozese okutuusa empeereza ku bannayuganda.
Pulezidenti Museveni emabegako yasabye Palamenti emukkirize ayongere ku muwendo gwa baminisita agatteko omu anaakola ku nsonga z’abakadde.

Ku Lwokuna, omubaka wa West Budama North, Fox Odoi yaleese ekiteeso okulinnyisa ku muwendo gwa baminisita ng’asinziira ku nnyingo 113 ne 114 ekya Ssemateeka wa Uganda era kino kyasembeddwa omubaka omukyala owa Dokolo Cecilia Ogwal.

“Nsaba mukkirize muwagire ekiteeso kino n’abakadde basobole okufuna alondoola ensonga zaabwe.” Ogwal bwe yasabye. Palamenti ebadde ya bbugumu ng’ababaka bakubaganya ebirowoozo ku nsonga eno.
Bw’abadde awagira ekiteeso kino, Minisita Chris Baryomunsi agambye nti waliwo obujulizi obweraga nti buli omuwendo gw’abakulembeze bwe gulinnye n’empeereza eri abantu yeeyongeddeko.

“Waliwo obujulizi obwoleka nti omuwendo gwa baminisita n’abalondoola bannabyabufuzi, kitumbudde enkulaakulana era n’obuwangaazi bw’abantu ng’omuwendo gw’abaana abafa nga baakazaalibwa gukendedde ate nga ne bannansi beeyongedde okuwangaala.” Baryomunsi bw’annyonnyodde.

Aba Opozisoni bakiwakanyizza

Ababaka ku ludda oluvuga basoose kuwakanya kiteeso kino nga bagamba nti tebalaba mugaso gwabwe ate nga basaasaanyizibwako ssente mpitirivu.
“ Si ffe tusalawo omuwendo gwa baminisita naye tetwetaaga muwendo gwa baminisita munene. Kenya erina obukadde bw’abantu 70 naye erina baminisita 23. Tanzania nnene ku ffe naye erina baminisita batono nnyo, bano tetulina nsonga ebongerako kuba tebabeera mu Palamenti.” Omubaka Joseph Ssewungu bw’awakanyizza.

Ye omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana ategeezezza nti mu butuufu omuwendo gwa baminisita gulina kukendeezebwako kuba basaasaanyizibwa ssente nnyingi.
Ono agamba nti singa Palamenti ekkiriza okwongeza omuwendo gwa baminisita eba ng’etalina mugaso kubanga Pulezidenti yasoose ku mulonda nga tebannamuyisa.

Ate ye Nnampala w’oludda oluvuganya omuggya, John Nambeshe, ategeezezza nti ekiteeso kino ekyongeza omuwendo gwa baminisita tekirina kye kigenda kukola ku kutumbula mpeereza okuggyako okuyamba Pulezidenti Museveni.

Ono agamba nti kino Pulezidenti Museveni akikozesa okwongera okwenywereza mu buyinza so si kutuusa buweereza ku bannansi n’aba NRM bwe ba gamba. Oluvannyuma lw’okukubaganya ebirowoozo, ekiteeso kino kiyise era palamenti ne yeeyongerayo okuteesa ku nsonga endala.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.