• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Palamenti ejaguza emyaka 100, emirimu gy’ababaka bannansi bagitankana

Gambuuze by Gambuuze
March 23, 2021
in Amawulire
0 0
0
Palamenti ejaguza emyaka 100, emirimu gy’ababaka bannansi bagitankana
0
SHARES
27
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Kampala

Olwaleero giweze emyaka 100 bukya Palamenti ya Uganda etondebwawo mu 1921 era omumyuka akulira eby’amawulire n’empuliziganya mu Palamenti, Hellen Kaweesa, agamba nti mukakafu  ku kya Palamenti okunyweza enfuga eya demokulaasiya emyaka 100 egiyise.

Ebikujjuko bino bikwatiddwa mu ngeri ya kimpowooze olw’ekirwadde kya Ssennyiga Corona ekikyalemesezza abantu okukung’aana.

Oluvannyuma ababaka bayisizza ekiteeso ekijjukira emyaka 100 bukyanga Palamenti entondebwawo.

Ku ngeri Palamenti gy’ezze ekolamu, Kaweesa agamba nti wadde wakyaliwo ebisoomooza naye Palamenti ekyuse, omuwendo gw’ababaka gweyongedde era n’abantu kati babeera bagoberera ensonga eziri mu Palamenti okusinga bwekyali.

“Palamenti eno nnene emirundi etaano okusinga eyasooka, ekisenge ekyasookerwamu kyali kya babaka 100 bokka naye kati mu Palamenti ey’e 11 bajja kusoba mu 500. Noolwekyo tukyasoomoozebwa ekifo kuba tulina okukigaziya.” Kaweesa bw’annyonnyodde.

Kaweesa agasseeko nti enfuga ya demokulaasiya, ababaka ba Palamenti bagyettanidde nnyo ekireeseewo obwerufu.

Ono agamba nti kati basoomoozebwa omuwendo gw’ababaka abato ogweyongedde ate nga n’ebitundu bye balina okukiikirira bikyali bingi, ekitegeeza nti ababaka bakyeyongera.

Kaweesa alaze okutya olw’omutindo gw’ababaka oguserebye yo nga Palamenti n’ategeeza nti balina eddimu okubabangula ate nga n’abamu ku bantu tebategeera buvunaanyizibwa bwa babaka nga bababanja ebintu bingi ebitali buvunaanyizibwa bwabwe

“Obuvunaanyizibwa bwabwe tebunnategeerebwa, abamu basaba ababaka ebintu bingi okuli; amasomero, amalwaliro wadde nga kino kiva ku babaka okusuubiza ensi n’e Ggulu nga banoonya akalulu. Noolwekyo tulina okubasomesa bamanye obuvunaanyizibwa bwabwe.” Kaweesa bw’ategeezezza.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist