Bya Ronald Mukasa
Najjanankumbi – Kyaddondo
Minisita w’Enkulakulana y’Abantu n’Ensonga za woofiisi ya Nnaabagereka, Owek. Chotilda Nakate Kikomeko akuutidde abalwadde okutwala obulamu bwabwe nga kikulu era banywerere ku biragiro bya basawo.
Obubaka buno Owek. Kikomeko abuweeredde Najjanankumbi mu Kyaddondo ku Lwokusatu bw’abadde aggulawo olusiisira lw’ebyobulamu olugenda okumala ssabbiiti nnamba okuva nga 6 -14 omwezi guno.
Abantu abasabye okugoberera obulungi okulambikibwa kwa abasawo saako nokufuba bulijjo okufuna obujjanjabi obwekikkugu.
Owek. Nakate yeebazizza Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka olw’obukulembeze obulungi nokulowooza nga ku bantu be nga abateekerateekera ensiisira z’ebyobulamu okusobola okutumbula embeera zabwe.
Mu ngeri yeemu yeebazizza abasawo olw’okussaamu ekitiibwa ekiragiro kya Ssaabasajja eky’okutuusa obujjanjabi obusoboka ate nga bwa mutindo eri abantu be ate nga bakola nokwagala.
Meeya wa Divizoni ye Lubaga Mberaze Zacky Mawiya yeebazizza nnyo Maasomooji olw’okukwasizaako abantu be mu nteekateeka z’ebyobulamu era neyeebaza minisita Chotilda olwokusittukiramu okulondoola entambuza y’enteekateeka zino.
Omusumba Daudi Mpande abuulidde abantu ku bwesigwa saako nokwagalana kubanga kino katonda kyabaagaza.
Minisita yatandise nakulambula abantu abetabye mu lusiisira luno okubadde abaana abato abavubuka nabakadde n’abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo.