Bya Stephen Kulubasi
Kampala
Minisita wa Buganda avunaanyizibwa ku mirimu egy’enkizo, Owek. Daudi F.K Mpanga, alabudde Minisita omuggya ow’ebyettaka, Sam Mayanja, okwewala okucamuka naddala ku nsonga z’ettaka lya Mayiro era akomye okutyoboola Obuganda wabula yettanire okwogerezeganya ne Buganda amanye ensonga bwe zitambula.
Bino Owek. Mpanga yabyogeredde mu Kampala bwe yabadde ayanukula bannamawulire abaamusabye ayogere ku kya gavumenti okwagala okuggyawo ettaka lya Mayiro wamu n’ebigambo Minisita Sam Mayanja by’azze ayogera ku ttaka lino.
” Bwe bakuwa woofiisi ey’ekitiibwa osaana n’oyawula ebibyo n’ebyo eby’abakama bo. Tosobola kutereeza biriwo ng’onaayiza ensobi ezaayita. Mukulu Mayanja asaana anoonyereze ku nsonga z’ettaka azitegeere, ave mu kucamuka n’okwekubiira. Ate alina okuyiga engeri baminisita gye beeyisaamu.” Minisita Mpanga bwe yagambye.
Gye vuddeko yategeeza ng’ettaka lya mayiro bwe linyigiriza abantu abataagabana ttaka mu ndagaano ya 1900 era n’alaga nti lirina okuggyibwawo.
Okusinziira ku Owek Mpanga, Obwakabaka bwa Buganda bulina omugabo munene ku ttaka mu Uganda nga kitegeeza nti mu buli nsonga ekwata ku ttaka, Buganda erina okwebuuzibwako era bwe watabaawo bwenkanya, Obwakabaka bubeera bufiirwa.
Owek. Mpanga, gavumenti egiwadde amagezi okusinga okwesiba ku ttaka lya mayiro, essira liteekebwe ku kutumbula enkola ya liizi.
Okwongera okulaga obukulu bwa liizi, Owek. Mpanga yalaze enteekateeka Buganda gy’erina ekubiriza abantu abali ku ttaka lya Kabaka okulifuna mu nkola ya Kyapa mu ngalo.
Owek. Mpanga yagasseeko nti singa gavumenti eremera ku nsonga y’okuggyawo ettaka lya Mayiro, kigenda kuba kikontana ne Ssemateeka aw’abantu obwannannyini ku kintu.
Era yasabye ensonga z’ettaka wonna mu ggwanga zikwatibwe wamu okusobola okuzuula ekizibu ekivaako enkaayana ku ttaka, kuba emivuyo giri ne mu bitundu ebirala awatali ttaka lya Mayiro. Owek. Mpanga agamba nti kisobokera ddala okuwanyisiganya ebirowoozo era ne wabaawo okukkaanya okutuukibwako.
Wabula agamba nti singa omukisa gw’okuteesa gubaawo, abakwatibwako ensonga balina okubeera abakkakkamu era n’okukkiririza mu ebyo ebinaava mu nteeseganya awamu n’okuwang’ana ekitiibwa.
Era yasabye waleme kubaawo kunaayiza nsobi ezaakolebwa abafuzi bamatwale n’abo abaaliwo mu biseera ebyayita, okusobola okugonjoola ekizibu kino.
Ono teyatalizza bbanka y’ensi yonna eyategeeza nga Buganda bw’ejaajamya ettaka ng’erikuuma awatali kulikulaakulanya.
Owek. Mpanga yasabye abakulu mu kitongole kino basookenga kwebuuza ku nsonga nga tebannavaayo kuziwaako magezi.
Okusinziira ku Minisita Mpanga, Buganda erina ettaka ly’etereka olw’emigaso egy’enjawulo, kale ng’atamanyi nsonga za Buganda tasobola kubitegeera.
” Ffe tulina ettaka nga lya byabuwangwa bwaffe okugeza ettaka ly’e Nnaggalabi gye batikkirira Kabaka. Eyo tugendayo nga waliwo Kabaka atuuzibwa ku Nnamulondo. Oba oyagala tuddeyo tukolereyo ki? Tuliggyewo mbu tukukulaakulanya emikolo tugikolere wa? Ye bwe mba n’ettaka lyange nga ndikuumira ebiseera eby’omu maaao, musango? “Bw’atyo Owek. Mpanga bwe yannyonnyodde.