Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Omumyuka Asooka owa Katiikiro Hajji. Prof. Twaha Kaawaase Kigongo akubirizza abavubuka naddala mu matendekero agawaggulu okumanya Ennono yaabwe n’Obuwangwa era beenyigire mu nteekateeka zObwakabaka okusobola bagatte ettofaali ku lugendo lwa Buganda okudda ku ntikko.
Okwogera bino Owek. Kaawaase abadde asisinkanye abayizi okuva ku Ssetendekero wa Cavendish University bwebabadde bakiise embuga wano ku Bulange e Mengo ku Lwokusatu.
“Nga bwebali abayizi tubasuubira okuyingira mu kibiina kya Nkobazambogo era bakyettanire ku Cavendish, singa kino banaakikola bajja kuba batandise ku lugendo lw’okumanya obuwangwa n’ennono era babeere abasaale okutumbula Buganda,” Owek. Kaawaase bw’annyonnyodde.
Owek. Kigongo bano abalaze nti Buganda ku Kabaka balinga enkuyege ku Nnamunswa nga zino zirina okulwana nga bakozesa buli kyebalina okukuuma Kabaka nga ali waggulu nga bayita mu nnono n’obuwangwa awamu n’okweyambisa ennono zino okugaziya enyingiza ya Buganda.
Wano Omumyuka wa Katikkiro asooka Owek. Haji. Prof. Twaha Kigongo Kaawaasa kulwa Katikkiro Charles Peter Mayiga asoose kusomesa bayizi ku byafaayo bya Buganda, Ennono n’Obuwangwa bwa Buganda.
Atwala abayizi ku ttendekero lino, Medard Nabasa ategeezezza ekigendererwa kyabwe kyokwongera okumanya enteekateeka z’Obwakabaka saako obuwangwa n’Ennono yabwe wamu n’okutumbula enkolagana yabwe ne Buganda.
Ensisinkano eno yeetabiddwamu baminisita abalala omubadde Owek. Prosperous Nakindu Kavuma, Owek. Ahmed Lwasa n’Owek.Henry Ssekabembe n’abalala.
Abayizi bano waddenga basomera mu Uganda, bava mu mawanga ag’enjawulo okuva mu mawanga ag’enjawulo wano ku lukalu lwa Africa era beebazizza olw’omukisa guno.