
Bya Ssemakula John
Lungujja – Kyaddondo
Obwakabaka butendereza emirimu gyo Owek Joyce Mpanga kati omugenzi eyabadde omukiise mu lukiiko lwa Buganda gyakoledde Buganda mu kiseera waabeeredde omulamu.
Obubaka buno omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Owek.Patrick Luwaga Mugumbule yabwetisse bw’abadde ku Kkanisa ya St. Stephen’s Church e Lungujja mu kusaba kw’okwebaza Katonda olw’obulamu bwe.
Omukubiriza Mugumbule atendereza obumalirivu n’omukwano Owek. Mpanga byabadde alina eri Obwakabaka kwosa ne Ggwanga lye.
Owek. Luwaga, Omugenzi amwogeddeko nga abadde omuntu omukakamu era omukozi eky’okulabirako eri abantu abalala.
Okusaba kuno kukulembeddwamu Venon.Canon. Godfrey BK Buwembo Ssaabadinkoni we Nateete ga mu bubaka bwe akubiriza abantu bulijjo nga batambula olugendo olw’obulamu bwabwe nga baleka omukululo abalala kwebasobola okuyigira.
Ye Minisita w’Ettaka n’ Ebizimbe mu Buganda era mutabani w’Omugenzi Owek. David.F.K Mpanga kwosa nabenganda ze abalala beebaziza Nnyabwe Owek. Joyce Mpanga omugenzi olw’okubateekateeka obulungi ekibasobozeseza okufuuka abantu ab’omugaso mu ggwanga.
Abenganda b’Omugenzi abalala nga bakulembeddwamu Owek.Dan Muliika bagamba nti alese eddibu Ddene eritazibika kubanga abadde agatta abantu nokubagaliza awatali kusosola mu ddiini oba amawanga gabwe.
Omukolo guno gwetabiddwako abantu abenjawulo okubadde ba Nnaalinya, Ssaabaganzi , baminisita mu Bwakabaka abakungu, kwosa abakulembeze ne bannabyabufuzi mu Gavumenti eyawakati.









