Bya Jesse Lwanga
Mukono
Poliisi e Mukono eri ku muyiggo gwa famire y’abantu basatu ku bigambibwa nti bano beenyigidde mu kutemula omutuuze Joseph Mathew Engenyi ow’emyaka 38, gwe baabadde babanja wuufa.

Abanoonyezebwa kuliko omwana ow’emyaka 15 ategeerekeseeko erya Innocent, Nnyina Scovia Auno ssaako bba eyategeerekeseeko erya Okello nga bonna batuuze b’e Lwanyonyi mu ggombolola ye Nama mu disitulikiti ye Mukono.
Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango, obuzibu bwavudde ku wuufa Auno gye yali yayazika ………..wabula n’agaana okugizza.
Onyango ategeezezza nga Engenyi ng’omulimu gwe gwa kupoota ku bizimbe, yayitiddeko mu Kabaala ka Auno mu kiro ekyakeesezza olwaleero ku Lwokuna nanywamu ku mwenge, era eno Auno gye yatandikidde okumubanja wuufa ye.
Ababiri bano baayombaganye era oluvannyuma n’omutabani, Innocent, ne yeegatta mu lutalo okuyambako nnyina, wano Engenyi yakyukidde omulenzi n’amunemya lwaki yabadde yeeyingiza mu nsonga z’abantu abakulu era n’amusaba ensonga zino aziveemu.
Onyango annyonnyodde nti wano Innocent yafulumye akabaala kano era ne yeefuula abivuddeko wabula bwe yakomyewo yazze na kiso n’akifumita Engenyi mu kifuba n’afiirawo.
Ono agamba nti bano olwalabye nga Engenyi afudde, famire yonna n’edduka nga kati baliira ku nsiko ate gwo omulambo gwa Engenyi gwatwaliddwa mu ddwaliro e Mulago era nga okunoonyereza ku kyagenda mu maaso, kumayitire ga famire eno.
Onyango alabudde abatuuze okukomya okutwalira amateeka mu ngalo, n’ategeeza nti omulenzi ono bagenda kumuvunaana gwa butemu era nga basuubira okumukwata.









