
Musasi waffe
Omusirikale w’eggye ly’eggwanga erya UPDF Lance corporal Marx Omutojo eggulo eyakubye era natta mukamaawe, Major Sulaiman Wafula akwatiddwa.
Ono abadde akolera mu ggye ly’omubbanga erisangibwa e Nakasongola, era yalumizza omusirikale omulala ali kuddaala lya Lutenanti Sam Chandiga.
Ayogerere eggye lya UPDF Brig. Richard Karemire yategeezezza olukungaana lw’abannamawulire ku kitebe ky’essengejjero ly’amawulire ga gavumenit nti ono waakutwalibwa mu mbuga z’amateeka avunaanibwe ng’okunoonyereza kuwedde.
“Tuvumirira ebikolwa bino kubanga UPDF emanyiddwa ng’eggye ery’empisa,” Karemire bweyagambye.
Yagambye nti baasaasidde nnyo ab’enganda za Wafula era nebeeyama okumuziika mu ngeri esaanidde newankubadde nga waliwo ebiragiro ku kuziika ebyateekebwawo omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni okusobola okutangira obutasaasaana kwa kirwadde kya coronavirus.








