Kampala
Omuvuzi wa boodabooda agambibwa okukubwa essasi ab’ebyokwerinda, akubye gavumenti mu kkooti ng’ayagala emuliyirire.
Joseph Musisi Bakabulinde nga mutuuze w’e Nabbingo ng’ayitira mu bannamateeka be aba Kugonza and Company Advocates y’addukidde mu kkooti enkulu etawulula enkaayana ng’ayagala emuyambe.
Bakabulinde yategeezezza nti olunaku lwali lwa Desemba 11 mu 2019, omupoliisi Simon Kweezira n’Omujaasi ali ku ddaala lya Kopolo Eliphazi Kyesesa nga bonna bakolera ku poliisi ye Nabbingo, baamuviira mu buntu nebamukuba essasi mu kugulu kwe okwa kkono era olwamala nebadduka.
Bakabulinde yategeezezza nti, entabwe yava ku ssente emitwalo 5 ezaali zimubangibwa mutuuze munne Fred Ssewaya.
Ono yannyonnyodde ng’abadduukirize bwe baamutwala mu ddwaliro lya Nabbingo Medical Clinic era oluvannyuma n’ayongerayo mu ddwaliro e Mulago gye yamala emyezi ena ng’ajjanjabwa oluvannyuma lw’okulongoosebwa evviivi era nga baamusaba obukadde bubiri.
Obujulizi Musisi bweyawadde kkooti bulaga nti yalemererwa okusasula ssente z’eddwaliro era bw’atyo n’atolokayo nga mu kiseera kino ali waka wabula nga talina buyambi kuba eddagala ly’alina okumira lya bbeeyi ate nga talina wadde ekikumi.
Musisi yagasseeko nti, ppikipiki gye yali aguze mu nkola ya looni okuva ku William Ssemwanga ku bukadde 5 n’ekitundu nayo yagifiirwa kubanga yalemererwa okusasula ssente emitwalo 7 eza buli wiiki ze baali bakkaanyizaako, olwokuba yali takyakola.
Musisi alumirizza nti, yagezaako okutuukirira abamukuba bamuwe ku ssente z’obujjanjabi naye nebagaana era n’aggulawo omusango ku poliisi ye Nabbingo, ono yaloopa nemu kakiiko akakwasisa empisa aka Police Professional Standards Unit naye nga n’ayambibwa.
Kati ayagala kkooti eragire gavumenti emusasule obukadde 2 n’emitwalo nsanvu z’asaasaanyizza okwejjanjaba awamu n’entambila era emuliyirire olwa basajja baayo okumuteekako obuvune.
Omuwandiisi wa kkooti eno Dr. Alex Mushabe alagidde Ssaabawalereza wa gavumenti okuteekayo okwewozaako kwe mu nnaku 15.
Bya URN