Bya Musasi Waffe
Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Afere mu tawuni ye Nebbi bwebazuukuse nga waliwo omulambo gw’omuvuzi wa booda booda nga gutemeddwako omutwe nasuulibwa okuliraana ekkanisa eri mukitundu kino.
Poliisi egamba omugenzi ye Erick Omaki, nga mutuuze ku kyalo Yao-Okecha mu divizoni ye Abindu , mu Munisipaali ye Nebbi .
Ssentebe w’ekyalo Afere, Margaret Onyon, yategeezezza abamawulire ku Lwokubiri ku makya nti yawulidde enduulu mu kiro naye natamanya kigenda mu maaso wabula nakubira Poliisi essimu.
Ono agamba nti bakizudde ku makya nti owa booda booda yabadde atiddwa.
Okusinziira ku Poliisi byezudde Omaki yapangisiddwa abantu abatamanyise okuva ku siteegi ye Parombo ku luguudo oluva e Nebbi okudda e Pakwach. Era akulira poliisi e Nebbi, Aminsi Kayondo agamba nti omutwe gwa Omaki bagusazeeko nga bakozesa akambe olwo nebatwala Pikipiki ye.
Oluvannyuma omulambo gwatwaliddwa mu ggwanika okwekebejjebwa n’oluvannyuma neguweebwa ab’oluganda lwe okuguziika.
Muganda wa Omaki, Gody Oryek, annyonnyodde nti muganda wabwe yayingira booda booda mu 2008 okusobola okubeezaawo famire ye nasaba poliisi okubayamba bafune obwenkanya.
Ye Mmeeya wa Munisipaali ye Nebbi, Geoffrey Ngiriker , avumiridde ekikolwa kino nagattako nti ebifo nga Aryendira ne Afere bifuuse kattiro nasaba ab’ebyokwerinda okusitukkiramu.