
Bya Ssemakula John
Bulange – Mengo
Katikkiro Mayiga akakasizza abali baguza kampuni esogola omwenge gwa Ngule muwogo awamu nabo abaali bagutunda nga bwekomyewo mu kibalo kya bizineensi oluvannyuma lwaguno okuddamu okusogolebwa.
Obubaka buno Katikkiro Mayiga abubaweeredde mu Bulange e Mengo ku Lwokusatu bw’abadde azza obuggya endagaano naba Uganda Breweries Ltd. okuddamu okusogola omwenge guno.
“Kati tukomyewo, tugenda kubatuusaako Ngule yonna gye muli. Kyokka ate, tetwagala munywe kutamiirukuka, wabula okunywako ekisaanidde. Mu Ngule, bangi baganyulwa; abalimi ba muwogo; abamusuubula, ab’ebbaala; n’abaana abaweereza mu mabbaala, bafuna ensimbi ne bakola ku nsonga zaabwe ez’enjawulo. Awonno mutuwagire,” Owek. Mayiga bw’annyonnyodde.

Kamalabyonna Mayiga agamba nti waliwo okusomoozebwa okw’enjawulo emabegako kwebasanga nebayimiriza okutunda Ngule naye kati buli kimu kiteredde era gukomyeewo ku katale.
Owek. Mayiga asabye abantu okwettanira okunywa Ngule, n’okumukozesa mu mikolo egy’enjawulo naye nabeewaza okutamiirukuka wabula bakozese ekisaanidde.
Ye Omumyuka wa Katikkiro Owookubiri, era Omuwanika wa Buganda, Oweek. Robert Waggwa Nsibirwa, annyonnyodde nti baafuna ebisomoozo bingi omwali; omusolo omungi, ssaako ne Covid19 nebasalawo okuyimirizaamu.
Owek. Wagwa aggumiza abantu ng’ omutindo bweguli omulungi ate nga enteekateeka zonna ziwedde bulungi Ngule asobole okutuuka ku bantu yonna gyebali.

Okusinziira ku Nsibirwa, eno yengeri y’okuwagiramu Obwakabaka nga bagugula ku silingi 2500 zokka.
Ssenkulu wa Majestic Brands Limited, Muky. Remmy Kisakye, agambye nti Ngule yabula lwa covid19, era akomyewo ng’alongooseddwamu n’okumulinnyisa omutindo.
Ku lwa Uganda Breweries Limited, Omuk. Eunice Waweru, akulira eby’ensimbi, agumizza Obwakabaka, ku ngeri gye bagenda okutundamu Ngule, nga beeyambisa ebirowoozo eby’enjawulo bye bafunye ku nsonga eyo.
Omukolo guno gwetabiddwako, Ssentebe wa Bboodi ya Majestic Brands Omuk. Robert Nsereko, n’abakungu okuva mu Uganda Breweries Ltd.









