15 Mutunda 2024
Bungereza
Omwami wa Kabaka atwala e Ssaza lye Bungereza ne Ireland Owek. Geoffrey Kibuuka n’Abamyuka be batuuziddwa okutandika obuweereza bwabwe mu butongole era omukolo gukoleddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga nga ayambibwako Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu, entambula za Kabaka n’ensonga z’ebweru wa Buganda, Owek. Joseph Kawuki.
Bwabadde abatuuza, Katikkiro abakuutidde okwewala engambo n’okunywerera ku kituufu, ebibala by’ebikolwa byabwe biboogerere okusinga okufaanana aboogera ebingi naye nga tebalina kyebakola. Mu ngeri y’emu, Mukuumaddamula abasibiridde entanda ey’okubeera abavumu era abayiiya bavvunuke ebisomooza ebiri mu buweereza. Kamalabyonna ajjukizza abalidde Obwami wamu n’abantu bebagenda okukulembera nti balina ekkatala ly’okuzzaawo ebyaffe kubanga gwe mulamwa omukulu mu omulembe Omutebi era naabasaba okutema empenda batuukirize ekkatala eryo.
Abantu ba Kabaka abawangaalira e Bungereza Katikkiro abasabye okwewala okugoberera obulimba obusasaanira ku mitimbago naddala nga bukwata ku nsonga z’embuga basobole okusigala ku mulamwa era abasabye okutambulira ku kulungamizibwa okuva e Mengo . Wano wasinzidde n’akuutira abatuuziddwa obutetantala kutambuliza mirimo ku mitimbagano wabula batuule ne bannaabwe ku buli nsonga bateese, bawangane amagezi olwo ekisaliddwako kiteekebwe mu nkola.
Guno gwe mukolo ogukomekkerezza olunaku olw’okusatu olwa ttabamiruka wa Bulaaya ayindira e Bungereza