Bya Mutaasa Michael Lubega
Omuzadde kola bino ng’oteekateeka okuzzaayo omwana ku ssomero.
Mu kaseera kano ak’okweteekateeka okuzzaayo abaana ku masomero, omuzadde yandisanye okutunuulira ensonga zino, kiyambe omwana we okusobola okutambuza obulungi emisomo gye.

- Ekisookera ddala, omuzadde ng’oteekateeka omwana okudda ku ssomero, ssooka osseewo enkolagana ennungi wakati wo n’abakulira essomero, nga kino kijja kuyamba nnyo, okumanya embeera omwana wo gy’alimu ng’ali ku ssomero, ate n’omwana kijja kumuyamba okwanguyirwa mw’ebyo by’aba yetaaga, kubanga empuliziganya ejja kuba weeri.
- Omwana wo muwe ebikozesebwa byonna ebyetaagisa ng’addayo, naddala omwana omuwala, kubanga bw’otabimuwa, yye ajja kwenonyeza abanaabimuwa, mu ngeri ate ezitali nnungi, ate n’omwana atalina bikozesebwa bimala ku ssomero asumbuyibwa nnyo okutuukiriza ebimwetaagisa ku ssomero.
- Omwana wo mubuulirire nga tannaba kuva waka, enneeyisa gy’alina okutambulirako ku ssomero, okukolagana ne banne, okufaayo ku misomo gye, okuwa ekitiibwa abasomesa be n’abakulu bonna ku ssomero, obuyonjo, okwewala emize n’ebirala kimuyambe okweyisa obulungi eri abasomesa ne bayizi banne.
- Wegendereze nnyo omuntu gw’owa omwana wo okumutwala ku ssomero, singa obeera ssi ggwe amwetwalira, kubanga abamu babeera n’ebigendererwa ebyabwe.
- Omwana bw’oba omututte ku ssomero, muleke asome, nga wegendereza amawulire g’omuwa ku bifaananyi eka olwo asobole okussaayo omwoyo ku by’asoma, omwana buli lw’awulira nti waliwo ebitatambula bulungi eka, naye omutima tegutereera oluusi n’amaliriza nga kikosezza okusoma kwe.
- Keebera nnyo n’obwegendereza, ebintu omwana wo by’atwala, ku soomero ssi kulwa nga atwaaliramu ebitetaagisa, ebiragalalagala, essimu ku masomero gye zitakkirizibwa n’ebintu ebirala.
Omuzadde bw’akola obulungi obuvunaanyizibwa bwe, n’omusomesa naye n’akola atyo, essomero lyonna lisobolera ddala okufukumya omwana aggumidde anaafuuka ow’omugaso mu Ggwanga.
Obubaka buno buvudde wa Mutaasa Micheal Lubega, Omukubiriza w’Olukiiko lwa Nkobazambogo mu Ggwanga.








