• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Omuwanika Waggwa Nsibirwa ayanjudde alipoota ku nsimbi ezava mu Luwalo eziwera akawumbi kalamba

Gambuuze by Gambuuze
January 17, 2023
in Amawulire
0 0
0
Omuwanika Waggwa Nsibirwa ayanjudde alipoota ku nsimbi ezava mu Luwalo eziwera akawumbi kalamba
0
SHARES
43
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Francis Ndugwa

Bulange – Mmengo

Minisita w’ebyenfuna era Omuwanika w’ eggwanika lya Buganda, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa ategeezezza nti abantu ba Buganda bongedde okujjumbira enteekateeka z’okulaakulanya Obuganda nga bawaayo ensimbi mu nteekateeka y’Oluwalo okusobola okuwagira enteekateeka za Beene.

Alipoota omuwanika agiweeredde mu Bulange e Mmengo ku Lwokubiri mu lukung’aana lwa bannamawulire olwetabiddwamu ne minisita omubeezi owa gavumenti ez’ ebitundu Joseph Kawuki.

Owek. Waggwa Nsibirwa ategeezezza nti  mu luwalo lw’omwaka 2022 basobola okukungaanya ensimbi eziwera akawumbi kamu n’emitwalo 90 wansi w’enteekateeka y’ Oluwalo lwaffe nga zino zakungaanyizibwa nezisengekebwa okusinziira ku masaza n’eggombolola eziri mu Buganda n’ebweru waayo.

Okusinziira ku Owek. Waggwa Nsibirwa ensimbi zino zisaasanyiziddwa ku bintu ebyenjawulo mu bwakabaka era Katikkiro Mayiga bweyali aggalawo Oluwalo lw’ omwaka 2022 yalagira eggwanika okufulumya ensaasaanya y’ensimbi zino okusobola okunyweza ennyingo y’ obwerufu.

Omuwanika agamba nti  ensimbi zino zizze zirinnya mu myaka ag’enjawulo nga mu 2017 bakung’aanya obukadde 202, mu 2018 nebafuna  obukade 414, 2019 obukadde 515, 2020 obukadde 352,2021 obukadde  654 ne 2022 akawumbi kalamba n’emitwalo 90.

Owek. Nsibirwa annyonnyodde nti Obukadde 60 bwawagira okulwanyisa mukenenya mu bwakabaka, ate obukadde 100 nebusibwa ku mulimu gw’ okuzzaawo Muzibwazaalampanga. Ekitongole kya Beene ekya Kabaka Education Fund bakiteekamu obukadde 76 ate Emmwaanyi Terimba nebagiwa obukadde 283 n’emitwalo 72.

Ono agasseeko nti omulimu gw’okuwa abantu amazzi amayonjo nga bayita mukusima enzizi baziteekako obukadde 39 nga zino zaava mu ssaza lya Rocky Mountains mu Amerika.

Minisita Nsibirwa agamba nti emirimu gy’ Embuga bagiteekako obukadde 71 nemitwalo 41 mu 7000m so nga okusembeza abagenyi ba Nnyinimu mu Bulange kwatwala obukadde 210 n’emitwalo 56. Ensimbi obukadde 93 n’emitwalo 45 mu lukumi zazzibwaayo ku Ggombolola ate amasaza ga Beene omuli Ankole, Mbale, Busia Malaba Tororo ne Busoga gaweebwa  obukadde 13 emitwalo 57 mu lukumi..

Owek. Waggwa agamba nti waliwo obubonero bungi obulaga nti abantu ba beene bongedde okusiima enteekateeka eno mu bikolwa kubanga ebisinga bibaganyula buteerevu nga mu nkola eno Obwakabaka bwakasima enzizi 671.

Ye Minisita omubeezi owa Gavumenti ez’ ebitundu, Owek. Joseph Kawuki ategezezza nti oluwalo luyambye okuzimba obukulembeze n’okukola ennyo mu bantu ba Kabaka kubanga ku mitendera gyonna abantu balwetabamu butereevu.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.