Bya Ssemakula John
Kampala
Poliisi etandise okunoonyereza ku kutemulwa kw’omuvuzi wa mmotoka ezipangisibwa ezimanyiddwa nga Sipensulo eyattiddwa mu bukambwe mu bitundu bye Bajjo.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emirilaano Luke Owoyesigire yategeezezza eggulo ku Lwokusatu nti, eyatemuddwa ye Christopher Batte ow’emyaka 58.
Okusinziira Owoyesigire, ono abasajja babiri n’omukazi omu bamupangisizza emmotoka ye ey’ekika kya Premio nnamba UAY 765H nga ya langi njeru nebamusaba abatwale ku kyalo Bajjo ku ntandikwa ya wiiki eno.
Owoyesigire yategeezezza nti bano olwatuuse e Bajjo nebamutuga wamu n’okumufumita ebiso ku mutwe neku mukono.
Yagasseeko nti, nga bamaze okumutta, omulambo gwe bagupakidde mu bbuutu y’emmotoka ye nebavuga nga badda mu bitundu bye Seeta mu Mukono.
Owoyesigire yanyonyodde nti, bano olwatuuse mu ttawuni ye Seeta emmotoka nezikirira wakati mu kkubo era kwekusaba abatuuze babayambeko okugisindika.
“Abantu baalabye omusaayi nga guva mu buutu y’emmotoka kwekubuuza byebabadde batwala, ababadde mu mmotoka tebabadde balambulukufu era wano abatuuze kwekusalawo nebakebera mu bbuutu gyebasanze omulambo gwa Batte,”Owoyesigire bweyategeezezza.
Wano abatuuze basazeewo okutwalira amateeka mu ngalo nebatandika okubakuba era okukkakana nga omu asigaddeko kikuba mukono ate abalala babiri okwabadde n’omukazi nebadduka.
Poliisi yategeezezza nti, batandise dda okukola okuyiggo gwa bano ate nga yo emmotoka yayononeddwa nga abatuuze bakuba abasajja bano.
Bano bagambye nti, basobodde okuzuula ekiso wamu n’omuguwa ebigambibwa okukozesebwa era nga n’okunoonyereza okuzuula abatemu bano ku kyagenda mu maaso.
Gyebuvuddeko, ebikolwa eby’ engeri emu byali bikyaase nnyo era nga abantu befuula bakasitoma abaagala okubatwalako nebatemula ba ddereeva olwo nebatwala emmotoka zaabwe.








