Bya Betty Namawanda
Masaka-Buddu
Ssaabasajja Kabaka wa Buganda adduukiridde abaami be abakulembera amagombolola mu ssaza ly’e Buddu n’entambula y’eggaali Maanyigakifuba mu kaweefube w’okwongera okukola emirimu gy’Obwakabaka.
Abaami ba Kabaka okuva mu magombolola 29 agakola essaza ly’e Buddu be bafunye eggaali zino okuva ewa Ssaabasajja ng’agabawadde ng’ayita mu kitongole ky’obwannakyewa ekya mikwano gya Buganda egiri mu America ekya WILLS era ne bubakwasibwa omwami wa Kabaka atwala essaza ly’e Buddu, Ppookino Jude Muleke. Omukolo guno gubadde ku Mbuga y’essaza Buddu wano mu kibuga.
Ppookino Jude Muleke asinzidde wano n’asaba abaami ba Kabaka okwebaza ennyo Ssaabasajja Kabaka abawadde entambula wakati mu kubasaba okukuma entambula zino bazikozese emirimu gy’Obwakabaka.
‘’Mbasaba mukuume saako n’okukozesa obulungi entambula eno ebaweereddwa Omutanda nga muzikozesa emirimu gy’Obwakabaka.’’Ppookino Jude Muleke bw’akutidde abaami ba Kabaka.
Mu ngeri y’emu abaami b’amagombolola nga bakulembeddwamu omwami wa Kabaka atwala eggombolola ya Mituba 3 Mukise, Dr. Herman Musiitwa n’abalala beebazizza nnyo Ssaabasajja Kabaka olw’okubawa entambula zino ne basuubiza okuzirabirira obulungi.