• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Omusomo gwa Nkobazambogo: Minisita Sserwanga abakubirizza okubeera ab’amazima

Gambuuze by Gambuuze
March 8, 2025
in Amawulire
0 0
0
Omusomo gwa Nkobazambogo: Minisita Sserwanga abakubirizza okubeera ab’amazima
0
SHARES
88
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Shafik Miiro

Bulange – Mmengo

Obwakabaka bubangudde bannakibiina  ki Nkobazambogo nebasomesebwa ku nsonga ez’enjawulo naddala ezikwata ku bukulembeze.

Omukolo guno guyindidde mu Bulange e Mmengo ku Lwomukaaga.

Bw’ abadde ayogerako eri Abavubuka bano, Minisita w’Abavubuka Emizannyo n’Ebitone Owek. Robert Serwanga abasabye okutegeera nti obukulembeze si kifo wabula kutuukiriza buvunaanyizibwa eri bookulembera n’abakuli waggulu.

Owek. Sserwanga abakuutidde okwewala okwebulankanya naddala nga waliwo ebibasuubirwamu okukola.

Owek. Serwanga akubirizza abakulembeze b’Abayizi okubeera abaamazima mu buli kye bakola kibayambe okufuna obwesigwa mu bantu olwo n’obukulembeze bubanguyire. 

Abakuutidde okwagala ennyo Kabaka n’okwetaba mu nteekateeka z’okujaguza amazaalibwa ge ag’emyaka 70 agasembedde.

Bano Minisita Serwanga  abalabudde abavubuka ku nkozesa y’emitimbagano naabasaba okunoonyako ebyo ebibagattako beewale akabi akagirimu.

Ku kakulu akasembedde,  abasabye obutenyigira mu bikolwa bimenya mateeka nabakubiriza okuwa endowooza z’ abalala ekitiibwa era balondere mu mirembe.

Bannankobazambogo abeetabye mu masomero gano bavudde mu masomero n’amatendekero ag’enjawulo era basomeseddwa ku miramwa egy’enjawulo nga obukulembeze, obuwangwa, ennono n’obulambuzi, eby’amawulire ne tekinologiya n’emiramwa emirala.

Omusomo guno gwe gw’omutendera ogusooka kw’egyo esatu egirina okuyisibwamu abakulembeze okusinziira ku nteekateeka ya Minisitule y’abavubuka.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist