Bya BBC
Kampala
Ab’obuyinza mu BurkinaFaso beetegese okutandika okuwozesa eyali Pulezidenti w’eggwanga eryo, Blaise Compaoré n’abalala 13, olw’okutemula gwe yaddira mu bigere Thomas Sankara okutandika nga 11 October.
Ab’obuyinza bategeezezza ku Lwokubiri nti musango guno gugenda kuwulirwa mu lujjudde era nga gugenda kuwulirwa mu kibuga kya BurkinaFaso ekikulu Ougadougou.
Kinajjukirwa nti Compaoré yaggyibwa mu ntebe oluvannyuma lw’okugezaako okweremeza mu buyinza mu 2014 ng’ekisanja kye kiweddeko era n’adduka mu buwang’anguse.
Ono mu kiseera kino ali mu ggwanga lya Ivory Coast era wadde taliiwo omusango guno gugenda kuwulirwa.
Mu 2015 ono baamuyisaako ekibaluwa kibakuntumye, mu April akakiiko k’amagye mu ggwanga lino kaamusongamu olunwe okulumba eggwanga lino era n’okwenyigira mu ttemu wamu n’okutemula abantu, emirambo gyabwe n’agikweka.
Wabula Compaore bino wamu n’ebyokutemula Sankara yabyegaanye ng’agamba tabimanyiiko.
Sankara eyali ayitibwa ‘African Che Guevara’, yali waamaanyi nnyo era n’okutuusa kati bangi naddala abaagazi b’enkyukakyuka bamutwala ng’ekyokulabirako.