• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Omulugube gusse eby’obufuzi bya wano – Wasswa Lule

Gambuuze by Gambuuze
September 10, 2020
in Amawulire
0 0
0
Omulugube gusse eby’obufuzi bya wano – Wasswa Lule
0
SHARES
29
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Gladys Nanyombi

Lubaga

Munnabyafaayo era omutunuulizi w’ensonga z’ebyobufuzi Wasswa Lule, arabudde bannayuganda ku mulugube mu bannabyabufuzi wakati nga beetegekeera akalulu ka 202i nti guno gwe gwonoonye ebyobufuzi bye Uganda.

Bino Lule yabyogeredde mu mboozi eyakafubo gyeyabaddemu ne GAMBUUZE ku Lwokusatu lwa wiiki eno nategeeza nti abantu abasoba mu asatu bonna okuvaayo nga baagala kuyitira mu Lubaga South bagende mu Palamenti kiraga kuggwamu nsa.

Lule yanyonyodde nga omusimbi ogupokerwa ababaka ba palamenti n’abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo bwekiserebeza omutindo gw’abantu abeesimbawo nga buli alina akasente ke kati alowooza kuyingira bya bufuzi bamulonde.

 “Abantu tebyalonda muntu agenda kutuusa bizibu byabwe eri bekikwatako wabula kati balonda oyo abagulira ku ssukaali ne ssabuuni olwo ye olumala okufuna kyayagala taddamu kulabikako eri balonzi okubabuuza nsonga ki ezibanyiga zebandyagadde oba olyawo zikolebweko,” Lule bweyalambuludde.

Ono yategeezezza nga abakulembeze tebakyalina budde bwakwogerako nababalonda era nga kino nga kino kisebengesezza enkulakulana ze bitundu wabula ono omusango wabula nategeeza nti guno gusinga balonzi kubanga tebamala kwetegereza muntu gwebalonda.

Lule yalaze nga ensonga y’okuvaayo okukulembera abantu bweri ennene nga terina kuzannyirwamu neyeewunya okulaba nga abantu abasoba mu 35 bonna bavuddeyo nga baagala ekifo ekirimu omubaka Kato Lubwama nategeeza nti wadde abamu ku bano obuyigirize obulagirwa mu ssemateeka babulina naye bayala nnyo era nalabula abalonzi okubeera abegendereza ku ani ggwe baanalonda.

Abantu ababadde bakeesowolayo okulamuza entebe y’ Omubaka Kato Lubwama mu kiseera kino kuliko;  Aloysius Mukasa, John Ken Lukyamuzi , Eugenia Nassolo , Samuel Lubega Mukaaku ne Kennenth Male.

Abalala kuliko; Musa Mbaziira, Sadat Mukiibi, munnamawulireDean Lubowa Ssaava , Grace Nakanywagi,  Masagazi, Junior Ssebalamu, Habib Buwembo,Isamail Ssemakula, Xavier Katabalwa, Kevin Nsubuga n’abalala bangi.

Omu ku bali mu lwokaano luno Lubega Mukaaku, yawagidde ensonga za Wasswa Lule nategeeza nga Uganda bwetakyalina bakulembeeze aalumirirwa bantu era kati mu by’obufuzi alinamu akasente yayitawo so ssi oyo alina ebirowoozo ebiyinza okugasa eggwanga.

Mukaaku yalaze nga abantu bwebaweddemu essuubi olw’obulimba obuyitiridde mu by’obufuzi era nakubiriza abakulembeze okufuna ekyo ekitono baleme kwesiiba mu kufuna binene ebibaviraako okulumya abantu ababatuma mu palamenti.

Ate yye munne bwebali ku mbiranye Aloysious Mukasa yanyonyodde nti wakyaliwo essuubi okufuna omuntu alumirirwa abantu.

Omutuuze mu Lubaga South  Male Robin, yategeezezza nga bwatasobola kulonda muntu yenna nga talina kyamuwadde kubanga ebbanga lyonna lyamaze nga alonda mu bwenkanya wadde bawa akalulu bayitamu naye ekitundu kye tekirina kikyuukako.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.