Bya Ssemakula John
Kampala
Omuloodi wa Kampala, Ssaalongo Erias Lukwago asabye poliisi ekwate omugagga Haruna Kiggundu nannyini kizimbe awamu ne bayinginiya b’ekizimbe ekyagudde mu Kisenyi ne kitta abantu abawerako, bakwatibwe bavunaanibwe.
Lukwago bino abyogeredde mu Kisenyi ku Mmande bw’abadde alambula ekizimbe ekyagudde ne kitta abantu abaweze mukaaga ate abalala munaana ne batwalibwa mu ddwaliro nga bapooca n’ebisago.
Omuloodi Lukwago annyonnyodde nti ekiseera kituuse okuvunaana bannannyini bizimbe mu Kampala ebigwa ne bitta abantu, awamu n’abantu bonna ababeera balabirira ebizimbe bino nga bizimbibwa omuli n’abakugu b’ekitongole kya KCCA.
Mu ngeri eno, Lukwago agamba nti kijja kusoboka okuliyirira abantu abafiirwa obulamu buli kadde awamu n’abo aboonoonerwa ebyabwe mu mbeera eno.
Loodimmeeya Lukwago asinzidde wano n’awera okulwanyisa enguzi eri mu woofiisi ezirina okukkiriza ebizimbe bino, okugaba pulaani n’okuzikakasa.
Lukwago annyonnyodde nti ekizibu ky’ebizimbe ebigwa buli lunaku kyeyongera olwemiwaatwa n’enguzi eri mu bitongole ebirina okukakasa pulaani z’ebizimbe ebizimbibwa.
Ono alagidde aba KCCA okuteeka ekizimbe ekyasigaddewo kyonna ku ttaka kuba ekizibu kino kisobola okuddamu abantu ne bongera okufiirwa obulamu.
Ekizimbe kino kyagudde eggulo ku Ssande era ng’abamu ku bakulembeze mu kitundu kino baategeezezza nga kino bwe kyavudde ku kupapirira kuba ekizimbe kibadde kizimbibwa awatali kukiwa budde kukala.