Bya Ssemakula John
Kampala
Omuloodi wa Kampala, Erias Lukwago, ali mu kattu nga tekimanyise oba anaasobola okuyita mu muyaga gwa Ambuleera ogututte abamu ku bannabyabufuzi ku ludda oluvuganya n’abanene ababadde ku gavumenti.
Erias Lukwago alwana okulaba nga yeddiza ekifo kye ekya Loodimmeeya wa Kampala, era ng’okutuusa ssabbiiti ewedde ono abadde akulembedde olwokaano luno, naye kino kyakyuse oluvannyuma lw’ekibiina kya NUP okuwangula ebifo ebisinga mu Kampala mu kalulu k’ababaka ba Palamenti n’aka Pulezidenti.
Omuyaga gw’ekibiina kya NUP gwayise mu Buganda era ng’ebitundu nga Wakiso ne Kampala, ekibiina kyakoze bulungi.
Ku kifo ky’omubaka omukyala owa Kampala, owa NUP, Shamim Malende yafunye obululu obusoba mu mitwalo 30 era nga banne bwe baabadde bavuganya yabalese bamunyenyeza mutwe.
Abatunuulizi b’ebyobufuzi bagamba nti singa abawagizi ba NUP bavaayo mu bungi ne balonda nga bwe baakoze ku kalulu akawedde, Omuloodi Erias Lukwago ayinza obutakwata mu kalulu.
Akalulu kano kongedde okuzibuwala oluvannyuma lwa gavumenti okuwera kkampeyini mu Kampala era nga kino kyayongedde okuzibuwaliza omuloodi embeera.
“Ebigenderewa byange abantu babimanyi, bamanyi ensonga kwenyimiridde kubanga nneerandiza nzekka.” Lukwago bwe yategeezezza emabegako.
Wabaddewo obunkenke wakati w’enkambi ya Nabillah Naggayi Ssempala nga y’alina kkaadi ya NUP n’eya Loodimmeeya Lukwago ng’aba Lukwago batambuza Nabillah ku mutimbagano ng’asisinkanye Pulezidenti Museveni, okugezaako okutattana ekifaananyi kye.
Wabula Nabillah akalambidde ng’agamba nti ekiriwo bannayuganda baagala kweddiza buyinza bwabwe era nga mukakafu nti agenda kuwangula kalulu kano kuba y’ali mu kisinde ekyoleka amaanyi g’abantu.
Okusalawo ani agenda okuwangula akalulu k’Obwaloodimmeeya ku Nabillah, Lukwago, Omuyimbi Mayanja ne Ssenkubuge, tulinze lunaku lwa nkya lwokka.