Bya Miiro Shafik
Kampala- Kyaddondo
Omulangira Dr. Kassim Nakibinge asabye Parliament ya Uganda ekole ku nsonga y’okuyimbula abantu absibwa olw’ebyobufuzi ng’ekozesa obuyinza bwayo.
Omulangira Nakibinge asinzidde ku mukolo Paalamenti kw’esiibululidde Abasiraamu gy’abadde ng’omugenyi omukulu.
“Ebyobufuzi bireme kubeera bya kufa na kuwona, abantu bonna abasibwa olw’ensonga ezeekusa ku byobufuzi bateebwe baddeyo basange abantu baabwe, waliwo abaasibwa emyaka 5 paka kati nga tebaleetebwanga mu kkooti, ate n’abaleetebwa mu kkooti nabo ensala tezigguka!” Omulangira Nakibinge.

Omul. Nakibinge ayogedde ku nsonga z’akalulu akakaggwa, n’ategeeza nti mu buli kuvuganya wabaawo awangula n’awangulwa, abavuganya basaana okumanya nti obululu bwaggwa basonyiwagane Ensi etambule. Agamba nti kirungi emmeeme z’abantu zikomezebwewo ziwone bakole emirimu emirala.
Mbuga Kassim Nakibinge yebazizza obukulembeze bwa Paalamenti olw’okutegeka okusiibulula Abasiraamu, era asabye abantu okwewala obukodo baanirize abantu mu maka gaabwe babasiibulule kubanga mirimu empeera, ono awabudde nti kirungi nnyo okusiibulula abali mu bwetaavu ng’agamba nti oyo Allah gw’agabiridde kirungi agabaneko n’abalala.
Omumyuka Asooka owa Katikkiro yebazizza Sipiika wa Paalamenti Rt. Annet Anita Among n’Omumyuka we Dr. Thomas Tayebwa olw’okwaniriza Abaami mu Gavumenti ya Kabaka okwetaba ku mukolo gw’okusiibulula Abasiraamu, abasabidde Allah abasasulemu ekyo kye yasuubiza abasiibulula abalala.

Owek. Kaawaase agamba nti kirungi obukulembeze bwa Paalamenti okukolagana n’Obwakabaka kubanga byonna ebikolebwa mu Paalamenti bikwata butereevu ku ba Buganda, nga okuteeseza ebyobulamu, ebyenjigiriza, ebyobulimi, obusuubuzi, amateeka n’ebirala. Ategeezezza nti essiga lino erya Paalamenti nga liteesa lirina okuwuliziganya n’Obwakabaka naddala ku nsonga ezikwata obutereevu ku Buganda nga ebifo bya Buganda, Gavumenti ya wakati by’ekoleramu emirimu, n’ensonga endala.
Owek. Kaawaase asabye bonna abagenda okuweereza bannayuganda emyaka 5 egiddako oluvannyuma lw’akalulu akakaggwa, bateeka okusoomooza ensonga zino. Asabye ensimbi Obwakabaka ze bubanja Gavumenti balabe nga baziteeka mu mbalirira naddala kubanga Paalamenti y’eyisa embalirira. Asabye n’olukiiko lwa Kabineeti ya Gavumenti ya wakati okuyisanga amangu ensonga ezigituukako nga zikwata ku Bwakabaka.
Sipiika wa Paalamenti Rt. Hon. Annet Anita Among yebazizza bonna abeetabye mu kusiibulula kuno era alaze essanyu okukyaza Jjajja w’Obusiraamu mu Uganda Omul. Nakibinge omulundi ogusookedde ddala mu myaka 5 gy’abadde Omukubiriza w’Olukiiko lw’Eggwanga olukulu. Ku mulamwa gw’olunaku ogw’okusonyiwagana, ono asabye abantu abammulumba ye n’Omumyuka we okukikomya, ng’agamba nti kirungi okuteeka amaanyi mu kusitula eggwanga okusinga okubeera mu kulumaŋŋana.
Omukolo guno gwetabiddwako Baminisita ba Kabaka Owek. Ahmed Lwasa, Owek. Mariam Nkalubo Mayanja, Supreme Mufti wa Uganda Sheikh Muhammad Galabuzi, Bamasheikh ab’enjawulo, Ababaka ba Parliament abapya n’ababaddemu, Baminisita mu Gavumenti ya wakati n’abagenyi abalala









