• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Omulangira Nakibinge asabye gavumenti ennoonyereze ku bijambiya n’ekyookya masomero

Gambuuze by Gambuuze
May 3, 2022
in Amawulire
0 0
0
Omulangira Nakibinge asabye gavumenti ennoonyereze ku bijambiya n’ekyookya masomero
0
SHARES
55
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Kibuli – Kyaddondo

Omulangira Kassim Nakibinge Kakungulu asabye gavumenti ebeeko kyekola ku bbeeyi y’ebintu eyeekanamye awamu n’emiwendo gy’amafuta egyeyongera okulinnya buli ddaakika kisobozese bannayuganda okweyagalira mu nsi yabwe.

Okusaba kuno Omulangira Nakibinge akukoledde  mu kugabula ekijjulo kya Eid kyeyategese Kibuli  ku Mmande.

“Ebijambiya e Wakiso ne Nansana,  tusaba muzuule abali emabega wabyo. Muzuule abantu abatemula bannayuganda mu bitundu bya Kampala eby’enjawulo . Mutuyambe mukwate abali emabega w’ebikolwa bino,”  Omulangira bwe yasabye.

Jjajja w’Obuyisiraamu Nakibinge era asabye gavumenti ennoonyereze  ku muliro ogukwata amasomero  mu ggwanga era nakuutira abayisiraamu okusigala nga bakuuma emirembe.

Omulangira  Nakibinge yagambye nti abayisiramu bonna beetegefu okwegatta singa wabeerawo enkola enung’amu ezigobererwa nga zesigamizibwa ku kugonjoola ekyabaviirako okwawukana.­­

“Mwenna mumanyi nti obukulembeze bw’obuyisiraamu mu Uganda tebuli wa mukulembeze omu era ekyo si kipya era mumanyi nti waaliwo ensonga ezatuleetera okwawukana n’ensonga ezo tetujja kuzitereeza nabannakigwanyizi n’obulimba naye tulina okutunuulira ddala zaava ku ki era tuzitereeza tutya tusobole okugenda mu maaso,” Omulangira Nakibinge bwe yategeezezza.

Wabula Omulangira  abagenda ewa Pulezidenti yabasabye bweba bakola eky’okubunyisa enjiri y’obumu nga bwebasuubiza nga tebasojjeza bannabwe okwewala okwongera okutematema mu bayisiraamu.

Ye Supreme Mufti, Muhammad Shaban Galabuzi yasabye gavumenti obutateeka mmwaanyi mu mikono gya Musigansimbi eyalemereddwa okumaliriza eddwaliro lye Lubowa, era nalaga obwetaavu okuddamu okwetegereza endagaano eyakolebwa kuba tegasa balimi ba mmwaanyi.

Galabuzi yawadde gavumenti amagezi  endagaano eno gyeyakola ne kampuni ya Vinci egisazeemu kuba terina kalungi kegenda kuwa balimi ba mmwaanyi mu ggwanga.

Omumyuka asooka owa Katikkiro, Prof. Twaha Kaawaase Kigongo, yakuutidde abalimi obutaggwamu maanyi basigale nga balima emmwaanyi kuba ebiriwo kati bigenda kuyita mu kaseera katono nnyo.

Oluvannyuma Omulangira Nakibinge  yagabudde abagenyi be nga omukolo gwetabiddwako ebikonge ebyenjawulo okuli n’omubaka wa America mu Uganda Amb. Natalie Brown.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist