
Bya Ronald Mukasa
Kampala – Kyaddondo
Omulamuzi Simon Byabakama asuubiza wamu n’akakiiko ke okuwa bannayugand akalulu ak’obwenkanya bwebanaaba bakidde abakookisi okulonda omukulembeze w’eggwanga n’abakulembeze abalala mu mwaka gwa 2026.
“Okusookera ddala , tusigazizza emyaka ezitawera ebiri okugenda mu kulonda. Twagala okusuubiza bannayuganda okukola buli kimu ekisoboka okubawa akalulu ak’amazima n’obwenkanya. Ekirala nsubizza nti tugenda kukolagana n’abantu bonna nga tetufuddeyo ku ndowooza zabwe okusobola okubeera n’akalulu ak’emirembe,” Omulamuzi Byabakama bw’annyonnyodde.
Ekisuubizo kino Byabakama akikoledde ku mukolo gw’okulayira ku kisanja ekijja eky’emyaka 5 nga ssentebe w’akakiiko kano nga alayiziddwa Ssaabalamuzi Alfonse Owiny-Dollo, ku kkooti enkulu mu Kampala ku Lwokusatu.
Kino kiddiridde Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni okuzza obuggya endagaano ye ku nkomerero y’omwezi oguwedde.
Abalala abalayidde be bakamisona omusanvu ab’akakiiko kano nga ku bano kuliko; Aisha Lubega, Stephen Tashobya, James Peter Emorut, Sallie Simba Kayunga, Caroline Beinamaryo ne Anthony Okello.
Okusooka Ssaabalamuzi Owiny Dollo yategeezezza nga bannayuganda bwebatanasomesebwa kirala ku nsonga z’okulonda ng’ebiseera ebimu kino kireetawo abantu okubuusabuusa ebibeera bivudde mu kalulu.
Kino Ssentebe Byabakama yakikkiriza nalaga nti olumu kiva ku bbula lya nsimbi nga zeezibalemesa okukola ebintu ebimu wabula nagattako nti akalulu okubeera ak’amazima n’obwenkanya buvunaanyizibwa bwa buli akwatibwako omuli bannabyabufuzi, ab’ebyokwerinda, bannamawulire n’ebibiina by’ obwannakyewa.
Ku nsonga y’Abeesimbyewo obutaweebwa mukisa kyenkanyi mukisa gwa mawulire, Byabakama akkiriza nti babadde n’okusomoozebwa naye nakakasa bannayuganda nti ku mulundi guno bajja kufuba okukola etteeka kyeligamba.









