• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Omulamuzi alumiriza Ssaabalamuzi okuwamba empapula z’ensala ye mu gwa Bobi Wine

Gambuuze by Gambuuze
March 18, 2021
in Amawulire
0 0
0
Omulamuzi alumiriza Ssaabalamuzi okuwamba empapula z’ensala ye mu gwa Bobi Wine
0
SHARES
14
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Kampala

Wabaddewo katemba mu kkooti Ensukkulumu leero ku Lwokuna, Omulamuzi wa kkooti eno, Esther Kisaakye omu ku balamuzi ababadde mu gwa Kyagulanyi bw’alumiriza Ssaabalamuzi Alfonse Owiny Dollo okuwamba fayiro ye omubadde ensala ye ekontana n’abalamuzi abalala.

Omulamuzi Esther Kisakye alumiriza Ssaabalamuzi okukweka fayiro ye

Okusooka kkooti eno yasoose kuwa nsala yonna ku bujjuvu ku nsonga lwaki baagana okukkiriza Kyagulanyi okukola ennongoosereza mu mpaaba ye, okugaana obujulizi obuggya wamu n’okumukkiriza okuggyayo omusango.

Oluvannyuma lw’okusoma ensala abalamuzi okuli; Omulamuzi Ruby Opio Aweri, Ezekiel Muhanguzi ne  Paul Mugamba,  Ssaabalamuzi alagidde kkooti ewummulemu okumala eddaakiika 30 ng’omulamuzi Kisakye tannawa nsala ye.

Wayiseewo essaawa nga nnamba bannamateeka ku njuuyi zombi ne bayitibwa mu woofiisi ya Ssaabalamuzi.

Wano Omulamuzi Kisakye akomyewo mu kkooti okusoma ensala ye mu musango guno naye fayiro ye ebadde terabikako.

“Ndi wano okuwa ensala yange mu musango guno, Ssaabalamuzi n’abalala bwe tutuula mu kkooti eno bagaanye okubaawo nga nsala ensala yange mu ttuntu lya leero naye okusalawo kwabwe nkussaamu ekitiibwa. Naye ekisinga okunneewuunyisa fayiro yange yawambiddwa ab’ebyokwerinda ku biragiro bya Ssaabalamuzi.” Kisakye bw’agambye.

Omulamuzi Kisakye yazzeeyo mu woofiisi ze okunoonya fayiro erimu ensala ye era ajja kudda okuwa ensala ye mu musango guno.

Ate ye munnamateeka wa Kyagulanyi, Samuel Muyizi, oluvannyuma yategeezezza bannamawulire nti Ssaabalamuzi yabadde abategeezezza nti omusango gugenda kwongezebwayo.

Wabula Omulamuzi Kisakye yakomyewo n’asoma ensala ye ng’agiggya mu kkopi eyabadde eyokeddwamu era n’alemerako nti Ssaabalamuzi yabadde awambye fayiro ye.

Mu nsala ye,  Omulamuzi Kisakye agambye nti akalulu kaabulamu amazima n’obwenkanya era akalulu keetaaga kuddibwamu. Wabula kino kikola amakulu matono kuba kkooti eno etuulako abalamuzi abawerera ddala 9  ensala y’abalala yo teraga bwetaavu bwakuddamu kalulu kano.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist