Bya Pauline Nanyonjo
Mmengo-Kyaddondo
Omulabirizi wa West Buganda omuggya Bishop Gaster Nsereko eyatuuzibwa nga 30 Mugulansigo 2025 akyaddeko embuga okuwayaamu ne Katikkiro wa Buganda ku nsonga ezitali zimu naddala ku kitundu kya Buddu ekyamukwasibwa ekkanisa ya Uganda okulyowa abantu ba Beene emyoyo nga ensisinkano eno eyindidde ku Bulange e Mmengo.

Kamalabyonna Charles Peter Mayiga asinzidde mu kisenge kya Kabineeti n’annyonyola nti tewali kisobola kwawula Bwakabaka na bakristu kuba singa ssi Bwakabaka eddiini teyandize mu Uganda kale nno emirimu egikolebwa ekkanisa gikakata buteerevu ku Buganda ate n’egya Buganda eri ekkanisa.
“Singa tebwali Bwakabaka oba olyawo obukulisitu bwandituuse naye bwe kyatuukamu omukono gwa Ssekabaka Muteesa I eddiini yatuukira mu mikono gya wagulu n’olwekyo enkolagana weeri mu kkanisa n’ennono y’Obwakabaka kale ffe abaliwo kakaati mulimu gwaffe okukuuma ennono, bwe ndaba nga Bishop azze wano muli mu mutima manya nti Obwakabaka bwongera kutebenkera era ennono erina okukuumibwa ffe abagisangawo n’abalituddirira Obwakabaka obutatengana n’enzikiriza”Katikkiro Mayiga bw’alambuludde.
Owomumbuga era anyonyodde nti ekiwanguza abawereza bonna y’engeri gye bawerezaamu nga wano eky’okulabirako awadde kya Bishop Nsereko nga ono yazaalibwa mu Busiro kyokka obuweereza nabuyingiriramu e Ssingo oluvanyuma eyatwalibwa e Buddu okwongera okuweereza kale nga ekyokuyiga.
Oweek Mayiga abasabye buli muntu okumanya nti talina kutya nga asindikidwa okukolera ewala wabula banyiikire okukolera ku buweereza obw’omutindo.
Omulabirizi wa West Buganda Gaster Nsereko yebazizza nnyo gavumenti ya Ssaabasajja olw’emirimu gye bakola egisitula embeera za bantu e Buddu omuli eby’obulamu nga babazimbidde eddwaliro, okugaba omusaayi, ebyobulimi n’obulunzi nga bagulirwawo emmerezo y’emmwanyi kwossa okubakubiriza okusimba n’okuzza omutindo ku mmwanyi, ebyenjigiriza nga ono anokoddeyo Pokiino Nursery School eyakabazimbirwa gy’agambye nti yakwongera omutindo ku bisomesebwa abaana naddala abato.

Omulabirizi Nsereko asiimye nnyo enkolagana y’ekkanisa n’Obuganda kuba batambulira wamu okugusa obuweereza eri abantu ba Katonda.
Ensisinkano eno yetabiddwamu abadinkoni n’abawuule okuva mu West Buganda Diocese, famire y’Omulabirizi Nsereko yonna wamu ne Baminisita ba Ssaabasajja abamu.









