• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Omukulu w’Ekika kye Mpologoma Omuggya Atuuziddwa

Gambuuze by Gambuuze
September 1, 2024
in Amawulire
0 0
0
Omukulu w’Ekika kye Mpologoma Omuggya Atuuziddwa
0
SHARES
315
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Najib Nsubuga

Lwadda – Kyaddondo

Omutaka Ssebuganda Namuguzi, omukulu w’ekika kye Mpologoma abbulukuse oluvannyuma lw’okutereka omubuze.

Omutaka Lukanga Erukaana, asumikibbwa Jjajjaawe Owessiga Ssegamwenge, Anthony Muyigwa, era n’ayanjulwa Katikkiro w’ekika Omutaka Kireega, Patrick Kisekka Ddungu, okusikira entebe ya Bajjajjaabe nga ye Mutaka Ssebuganda Namuguzi owa 35. Atuuziddwa wamu ne Lubuga we Omuky. Nalwadda Susan.

Omukolo gw’okwanjula Namuguzi omuggya eri bazzukulu be ne Buganda gubadde ku butaka bw’ekika kye Mpologoma ku mutala Lwadda, Matugga, Kyaddondo. Oluvannyuma lw’okutuuzibwa, Omutaka Erukaana Lukanga, yeebazizza nnyo bazzukulu be olw’okujja mu bungi okujulira okubbulukuka kwa Ssebuganda Namuguzi, era n’abasaba bulijjo bajjumbire enteekateeka z’Ekika kyabwe. Aweze okukola n’obusobozi bwe bwonna okuweereza ekika kye n’okuba omuwulize eri Nnamulondo.

Ku lwa Gavumenti ya Ssaabasajja Kabaka, Minisita w’Obuwangwa, Embiri, Amasiro, Obulambuzi n’Ebyokwerinda, Oweek. Anthony Wamala, ayozaayozezza Omutaka Erukaana Lukanga n’abawologoma bonna olw’okubbulukuka kwa Ssebuganda Namuguzi. Amukubirizza okufuba okukunga n’okukumaakuma abazzukulu bazimbe ekika.

“Obukulembeze bw’ebika bulina okufuba okuteekawo enkulaakulana mu kika. Namuguzi omuggya okwasibbwa obuvunaanyizibwa bunene era olina okukunga abawologoma bakukwasizeeko mu kutambuza ekika”, Oweek. Wamala.

Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka b’Obusolya, Omutaka Nnamwama, Augustine Kizito Mutumba, naye ayozaayozezza Omutaka Ssebuganda Namuguzi, Lukanga Erukaana ne bazzukulu be bonna olw’okufuna Jjajja omuggya.

“Ku lw’Olukiiko lw’Abataka b’Obusolya, ku lwa Buganda ne ku lw’obuyinza obumpeebwa, nnyaniriza Omutaka Ssebuganda Namuguzi, Lukanga Erukaana, era nkwagaliza obuweereza obulungi”, Nnamwama.

Nnamwama era akubirizza abazzukulu mu bika eby’enjawulo okukola ennyo okulaba nga bazza ebika byabwe engulu, okuva mu nvuba abafuzi b’amatwale gye baabisibira. Abasabye okuyambanga bajjajjaabwe mu kutambuza emirimu gy’ebika byabwe kubanga buvunaanyizibwa bwabwe n’okunywezanga obumu.

Bazzukulu ba Ssebuganda Namuguzi, abakulembeddwa Oweek. Alhajj Amb. Prof. Ssaalongo Badru Kateregga Ddungu, baanirizza Jjajjaabwe omuggya era ne bawera okumuwulira n’okutambula naye mu kuzimba ekika kyabwe. Balaze obwennyamivu olw’abantu abeesomye okusaanyawo obutaka bwabwe era baweza nti si baakussa mukono okutuusa nga baggusizza olutabaalo lw’okununula obutaka bwabwe.

Omukolo gw’okutuuza Omutaka Ssebuganda Namuguzi, Lukanga Erukaana, gwetabiddwako Minisita w’Olukiiko, Kabineeti n’Abagenyi, Oweek. Noah Kiyimba, Omutaka Kidimbo, Dr. Grace Kizito Bakyayita, Abakulembeze b’enzikiriza e’enjawulo, Bakatikkiro b’ebika abalembeddwa Katikkiro wa Kiggye, Waggala Lubanga, Abaami ba Ssaabasajja Kabaka ku mitendera egy’enjawulo, Abaamasiga n’abakulembeze abalala mu kika kye Mpologoma, bazzukulu ba Ssebuganda Namuguzi n’abantu abalala.

Omutaka Ssebuganda Namuguzi, Lukanga Erukaana Lukanga, ye Namuguzi owa 35, asikidde kitaawe Namuguzi owa 34 omubuze, Ndawula Wilson. Omutaka Lukanga Erukaana, muzzukulu wa Lukanga Yokana, ava mu Luggya lwa Ndawula Katula, mu Lunyiriri lwa Byataba Maggwa, mu Mutuba gwa Kayondo e Kibaale Bulemeezi, mu Ssiga lya Ssegamwenge e Nampiima Kyaddondo.

Omutaka yayanjuddwa ewa Katikkiro wa Buganda nga bw’alindirira okwanjulwa mu butongole ewa Ssaabasajja Kabaka.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.